UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Fw: OKWOGERA KWA KATIKKIRO MU LUKIIKO - 08/05/2017




On Wed, 17 May, 2017 at 9:31, Emmanuel Ssendaula
<deputykatikkiro1@gmail.com> wrote:

Eri:

 

Ababaka n'Abamyuka b'Ababaka,

bonna Ebweru,


Ba Ssebo ne ba Nnyabo,

 

Mbalamusizza nyo mwenna nembeebaza emirimu gyemukola, awamu n'obuweereza eri Obwakabaka.

 

Mbaweereza okwogera kwa Katikkiro mu Lukiiko lwa Buganda kweyakola nga 08/05/2017 era nalaga bulungi wa Obwakabaka webwali butuuse mu banga ery'omwaka ogumu eryise okuva mu May, 2016 okutuuka mu May, 2017.

 

Katikkiro yalambulula ku nsonga nyingi, omwaali:-

(1)   Emirimu egikoleddwako Minisitule n'Ebitongole by'Obwakabaka byonna.

(2)  
Ensonga enkulu ezibaddewo mu Uganda, nga:-

(a)  
Eky'okulonda Akakiiko ka Uganda ak'Ebyettaka;
(b)  
Enkola y'Ekyapa mu Ngalo;
(c)   
Ettemu mu Buganda;
(d)  
N'ekolagana ya Banansi mu Uganda ne Bamusiga Nsimbi Abagirwa.

 

Kikulu nnyo nti obubaka bwa Katikkiro obwo mubutuusa ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Masaza gemukulembera. Kino kisobozese abo abakubaganya ebirowoozo ku nsonga ez'enjawulo ensangi zino mu Bwakabaka, naddala eyo ey'Enkola ya kyapa mu Ngalo, bakikole nga balina "facts" zonna zebatekeddwa okumanya.

 

Ssaabasajja Kabaka Awangaale.

 

 (Amb. Emmanuel Ssendaula),

Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w'Ensonga za Buganda Ebweru n'Enzirukanya y'Emirimu.

--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers