UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] Abasaabaze bakonkomalidde ku nguudo

Abasaabaze bakonkomalidde ku nguudo

KAMPALA


Abantu okwetooloola Kampala n'obubuga obulala, baakonkomalidde ku nguudo oluvannyuma lw'aba takisi okwekalakaasa ne bakweka emmotoka zaabwe nga bawakanya omusolo gwa KCCA.


Aba KCCA nga baayambibwako poliisi y'oku nguudo baazingizza enguudo zonna eziyingira mu Kampala nga takisi ezitannasasula zikwatibwa.


Abasaabaze abasinga mu bitundu bino baalinnye boda boda okutuuka ku mirimu. Ekikwekweto okusinziira ku bakulira KCCA kikyayinda.


Mu bifo ebisinga poliisi yakubaganye n'aba takisi era awamu amasasi gaatokose.


Aba takisi ssente zino baziwakanya nti minisita wa Kampala, Frank Tumwebaza eyalagira ziddewo yamenya ekiragiro kya kkooti ekyasooka okuziwera ne bagamba nti tebayinza kukolera ku biragiro bya Tumwebaze kubanga alinga atamanyi mateeka.


Embeera y'okwekalakaasa eno yazinzeeko ebitundu bya Kampala ebisinga obungi era baddereeva baggadde emiryango gya ppaaka mu Kampala okulemesa aba KCCA abaabadde bayambibwako poliisi.


Emmotoka ezisoba mu 100 zikwatiddwa ne zitwalibwa mu bifo ebyenjawulo era abasaabaze baakonkomalidde ku siteegi ezisinga.


KCCA yakedde kuteeka misanvu ku nguudo zonna eziyingira n'okufula Kampala era abamu ku ba takisi baalwanaganye n'abaserikale abamu ne bafuna ebisago.


Akavuyo kaasinze; Nateete, Nakawa ne mu ppaaka enkadde eno ng'amaduuka gaggaddwa poliisi bwe yatandise okukuba amasasi ne ttiya ggaasi okukkakkanya akajagalalo.


Akulira ekibiina kya DACCA, Mayambala yayambalidde poliisi ne KCCA okwenyigira mu kumenya amateeka n'agamba nti bo basazeewo kuyimiriza mirimu gyabwe.


Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yategeezezza nti yabadde akyali mu lukiiko olwamangu.


Loodi Mmeeya Erias Lukwago yannyonnyodde nti ebiriwo biraga enkola y'ekitujju egenda okuwamba Kampala era ekigendererwa kwe kulwanyisa oluuyi lw'ebyobufuzi basobole okubba abantu ba wansi nga tewali anyega.


NABAWEESI CAROLINE, ROBERT MUTEESA NE JUMA KAKOMO


 


 


 

Essomeddwa Emilundi 45 45 Ebirowoozo 1 1
ffe tulabaffe tulaba aba narwanda na banakole abo.naye ekisera kijja kutuka batunnyonyole ekigambo mufaliso ,emundu,namu??ona webabyogera at the right full time.kale no wulira mbu tumwebaze omwezi gwo 5(may) mbu bafuba okulaba nga mu kcca teri luganda.kyoka ensi enoooo.oba ayagala twogere lulimi ki.kale nowulira omusiru nga ono era owendowooza enafu.ffe tubalinze naye muja kutulaba.18 - Jun - 2013 21:48

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers