{UAH} EMBAGA YA KABAKA: Yamalawo obukadde 1,500 mu 1999
BUKEDDE Online akutuusaako ebyafaayo bya Buganda nga twetegekera amatikkira ga Ssaabasajja ag'omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31 2013.
Mu mulembe Omutebi ani ayinza okwerabira embaga ya Ssaabasajja eyaliwo nga August 27 1999! Omusasi waffe ANTHONY SSEMPEREZAagikuttottoledde nga bwe yagiraba.
OKUVA ku Matikkira ga Kabaka mu 1993, buli Muganda yali yeebuuza ddi Kabaka lw'aliwasa!
Wassibwawo akakiiko ak'ekyama e Mmengo akaakola omulimu gw'okunoonya Nnaabagereka.
Omutwe omukulu mu kunoonya Nnaabagereka yali Joyce Ssebuggwawo (meeya w'e Lubaga), omugenzi James Mulwana ne Dr. William Kalema.
Muky. Ssebuggwawo annyonnyola ebyaliwo nga Kabaka asisinkana Nnaabagereka:
Guno omulimu tegwali mwangu nnyo, kubanga twafuna abawala bangi nnyo nga Kabaka tabakkiriza.
Nze nafunamu n'okutya bwe nnalaba ng'abawala bangi nnyo abagaanye!
Bwe twatwala Sylivia Nagginda okubuuza ku Kabaka, twali n'omugenzi Mulwana ne Dr. Kalema, era Mulwana ye yamwanjulayo.
Okusooka yali muwala nga wa bbeeyi nnyo, ng'alina omulimu ogw'amaanyi anti yali akolera mu bbanka y'ensi yonna. Sylvia Nagginda ye yatandika ekibiina kya UNAA (Uganda North American Association mu 1988).
Ssaabasajja ne Nnaabagereka ku mbaga yaabwe nga August 27 1999.
Kabaka yali talabanga ku Sylivia Nagginda, era esisinkano yaffe eno ye yasookera ddala. Sylivia Nagginda olwamala okusisinkana Kabaka olwo ye n'addayo mu Amerika ku mirimu gye.
Olumu twali mu Lukiiko lwa Buganda e Mmengo, Kabaka n'ampita mu ofiisi ye n'ategeeza nti Sylivia Nagginda y'agenda okubeera Nnaabagereka we.
Kino kyasanyusa nnyo, kubanga nawulira ng'asiimye omuntu amanyi ekitiibwa kya Buganda ate ng'akuziddwa bulungi era nga mmutegeera bulungi, alina empisa.
Kabaka n'amuddamu nti bw'oba nga oyo gw'osiimye katubikwase Katonda. Yanziramu nti, 'Okuggyako nga ye y'atasiimye!'
Olwo omulimu gwe twalina omunene gwe gw'okumatiza Sylivia Nagginda, okubeera Nnaabagereka era ffensatule twagukola bulungi.
Kyokka ekya Nagginda okuba Nnaabagereka bwe nakimutegeeza yasooka n'akitya nnyo n'agamba nti, "Abantu abo babeera n'ebitiibwa bingi nnyo, ate tebakkirizibwa kukola ate nga nze nnina emirimu gyange mingi, eginneetaaza okutambula. Ng'enda kukola ntya?"
Namulaba ng'asobeddwa kyokka namugumya nti Kabaka yali ankakasizza nti ojja kubeera wa ddembe okukola ky'oyagala.
MUKY. Ssebuggwawo agamba: Oluvannyuma Ssaabasajja yakubira Sylivia Nagginda essimu n'amuyita ajje amulabe n'amuddamu nti, "Mbadde naakava mu Uganda, bwe nkomawo bayinza okungoba ku mulimu!"
Kyokka Kabaka yamusaba amuwe essaawa bbiri zokka, nti era bw'akkiriza tikiti y'ennyonyi esasulirwewo, wabula Kabaka yali tabuulidde Nagginda ky'amwagaza.
Nagginda yankubira essimu n'ambuuza nti, 'Olowooza kiki Ssaabasajja ky'ayagala okung'amba?
Namugamba nti ajje alabe, era ne mmugumya nti sirowooza nti Kabaka w'ensi ennamba Buganda ayinza okumugamba ekintu ekibi.
Olunaku lwali Lwamukaaga Nagginda n'ajja era ne tugenda okumukima ku kisaawe e Ntebe. Nakubira Kabaka essimu, kyokka omuwandiisi we ow'ekyama ye yagikwata nange ne mulekera obubaka agambe Kabaka nti omugenyi we atuuse.
Keeki Kabaka ne Nnaabagereka gye baasala ku mbaga.
Waayita akaseera katono Ssaabasajja n'ankubira okukakasa oba ddala omugenyi yali atuuse.
Yantuma omugenyi mugambe nti afuneyo bassenga be ne bakojjaabe agende nabo mu Lubiri e Bbanda.
Bassenga ne bakojja baakung'aanira wange e Mmengo era we baava ne bagenda mu Lubiri e Bbanda.
Baagenda okutuuka ng'Abambejja n'Abalangira babalindirdde era wano Kabaka n'alaga Abambejja n'Abalangira nti, 'Ono y'agenda okubeera Nnaabagereka wange. Gino gy'emikolo egiteekateeka embaga!'
Nnabagereka yaddayooko mu Amerika n'alekulira bulungi emirimu gye gyonna olwo n'ajja okubeera Nnaabagereka. Olwo Abaganda ne tufuna maama Nnaabagereka eyasoma ennyo n'akunakkuna".
Kyokka Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu kitabo kye, King on the Throne, anyumya nti, 'Olumu mu 1998, Ssaabasajja yagenda e Bungereza okulambula n'okukulira emikolo gy'ebyobuwangwa egyali gitegekeddwa Abaganda ababeerayo.
Ku gimu ku mikolo egyo, Kabaka yalaga Katikkiro Ssemwogerere, omuwala omulungi lwondo, omutono omuwanvu gwe yali atambudde naye.
Eyali Katikkiro Ssemwogerere ajjukira: Omuwala yafukamira wansi n'ambuuza, era n'atuula mu ntebe eyali etegekeddwa okuliraana Kabaka!
Kabaka yayanjulira olulyo Olulangira omuwala ono nga February 14 1999 mu Lubiri e Bbanda.
Kabaka ne Nnaabagereka nga bassa omukono mu kitabo ky'abafumbo e Namirembe.
Embaga yaggwa bakyagisondera
KATIKKIRO Joseph Mulwanyammuli yalangirira eri Obuganda nti embaga y'Omutanda etuuse era Abaganda bonna baafuna 'ekinyegenyege' olwo ate n'abasaba nti, buli akwatiddwaako ekinyegenyege aveeyo aweeyo ekisoboka okutegeka embaga eno.
Embaga ya Kabaka yamenyawo embaga zonna ezaali zibaddewo wano mu Buganda. Eyali ssentebe w'okutegeka embaga eno yali omugenzi James Mulwana.
Wassibwa obukiiko bungi ddala mu kutegeka embaga eno era buli kakiiko kaakola omulimu.
Omugenzi Mulwana mu 1999 yategeeza nti, baafuna obukadde 736 ne doola 86,000 ezaategeka embaga eno!
Ebintu ebikalu bingi okugeza eyali Meeya John Ssebaana Kizito, Mulwana ne Kampala City Council (KCC) baawa doola 75,000 okuddaabiriza oluguudo lwa Kabakanjagala ne Lubiri Ring Road.
Minisitule y'ebyenguudo n'esasula obukadde 60 ez'okuddaabiriza oluguudo okwetooloola Bulange.
Minisitule y'ebyensimbi yawa obukadde 64 ezaali ez'okusasulira emisolo gya mmotoka emu ku zaali ez'okutambuza Kabaka ku mbaga. Emmotoka eno, Toyota Lexus yagulwa Japan ku doola 65,000. Omugatte gwa ssente ezaasondebwa kaali akawumbi kamu n'obukadde 106.
Ebitongole ebyateekamu obuweereza obwenjawulo ng'eky'amasannyalaze okuteeka amataala okwetooloola Olubiri; eky'amazzi baawayo amazzi, eky'amasimu UTL baakola ku by'amasimu n'empuliziganya.
Abasogozi ba sooda aba Century Bottling Company baaleeta kuleeti 2,000, Nile Breweries kuleeti za bbiya 400, Uganda Breweries kuleeti 100, Crown Beverages kuleeti za sooda 500, Caltex liita z'amafuta 2,000, ekitebe kya Amerika n'ekitongole kya USAID ne B.A.T baawaayo weema.
Pulezidenti ne famire ye baawa obukadde 10 n'ente enzungu 10, Nile Breweries obukadde 62, Uganda Breweries obukadde 60, CelTel (kati eyitibwa Airtel) obukadde 40.
Isabirye J. owa kkampuni ya Mugoya Construction obukadde 20, ababaka ba Palamenti obukadde 19 n'ekitundu, Bbanka ya Uganda enkulu obukadde 15.
Abalala abaasonda mulimu Karmali Amirali owa Mukwano, Madhvani Group, Mbire Charles, Sudhir Ruparelia, Sharma Mehta, Karim Hirji yawaayo obukadde 10. Olukalala lw'abaawaayo lutandikira ku yalina 1,000/- okutuuka ku bukadde.
Omukama wa Toro, Oyo ne Kabaka Mswati owa Botswana nabo ku mbaga baaliyo.
'Nnaabagereka teyalinnyako mu ssaluuni'
MUKY. Ssebuggwawo anyumya: Akakiiko akaali ak'okulabirila omugole kaali kakulirwa Dr. William Kalema. Kaalina okulabirira omugole mu byonna omuli okulabiria engoye ze yali ayambala okuva lwe yajja.
Langi z'engoye zaali zikuumwa nga za kyama. Nnabagereka yakuumirwa mu kifo nga kya kyama, mu maka ga muwala w'omugenzi Mulwana ayitibwa Barbra Ssuubi e Kololo.
Nagginda yagaana okugenda mu ssaluuni, yakolerwako waka era abakugu mu byemisono gy'enviiri we baamusanga.
EZEKIEL Kiggundu Kawuki Maneeno, omutuuze w'e Kamuli- Kireka ye yavuga Kabaka ne Nnaabagereka ku mbaga yaabwe.
Yabavugira mu kapyata ey'ekika kya Lincoln eyaweebwayo Rabbi Mulondo. Bye yalaba ku olwo abiwoza nga lutabaalo:
Nnalagirwa kuvuga sipiidi 10 era ssaakyusa ku ggiya. Okuva e Kololo twayitira ku kisaawe kya Golf n'e Wandegeya, ne tuyitira e Nakulabye.
E Namirembe bwe twatuuka awali eng'oma Mujaguzo, Kabaka yava mu mmotoka okulamusa ku Mujaguzo era teyagiddamu.
Omukolo gw'okugatta bwe gwaggwa, Kabaka ne Nnaabagereka baayingira mmotoka ne badda mu Lubiri.
Nzijukira Nnaabagereka yakumba bulungi, kyokka olw'okuba gawuni ye yali mpanvu yamuziyizanga okwanguwa. Olwo Kabaka n'aba ng'amulekako emabega katono era nzijukira olumu yamugamba nti 'Ronnie wait for me!'
Embaga yanyumira mu Lubiri e Mmengo, Kabaka ne Nnaabageraka ne bagabula Obuganda era nze siddangayo kugirabako eyanyuma bwetyo!
0 comments:
Post a Comment