[UAH] Eyali Minisita Nsaba Butoro aleppuka na gwa bbanja lya bukadde 50
Eyali Minisita Nsaba Butoro aleppuka na gwa bbanja lya bukadde 50
Bya Florence Nangendo
KKAMPUNI y'empooza eya Kampala Financial Services Ltd ekubye eyali minisita w'empisa n'obuntubulamu;James Nsaba Buturo mu kkooti enkulu ewozesa emisango gy'ebyobusuubuzi lwa kulemererwa kusasula bbanja lya bukadde 50.
Mu bujulizi obutwaliddwa mu kkooti, akulira kampuni eno; Deus Rutazana ategeezezza nti omukulu ebbanja lino yali alina kulisasula nga ennaku z'omwezi 24 omwezi ogwokuna omwaka guno terunnayita.
Rutazana agamba nti Buturo yagenda mu maaso n'amuwa cheque eziwerera ddala 3 wakati wa January ne April w'omwaka guno wabula okuzituusa mu bank eya stanbic nga ku account za Buturo tekuli yadde ennusu.
Kati kampuni eno eyagala kkooti eragire Buturo asasule ensimbi zino nga ateekamu amagoba ga bitundu 2 ku buli kikumi.
Omuwandiisi wa kkooti; Thaddeus Opifeni alagidde omuwaawabirwa aweeyo okwewozaako kwe mu nnaku 10 zokka okuva kati.
0 comments:
Post a Comment