UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} THE GUYS THAT REPORTEDLY OWN KAMPALA MINUS SUDHIR

Abantu 20 abasinga okufuna omusaala omusava
Jul 21, 2013



Bya ANTHONY SSEMPEREZA

BAABANO abantu 20 abagambibwa okusasulwa omusaala omunene mu ggwanga. Bukedde ku Ssande alondodde emisaala gyabwe n'ezuula nti be basinga okukecula bajeti y'eggwanga olw'omusaala gwabwe okuba omunene.

Okusinziira ku kunoonyereza kwe tukoze, bamaneja b'ebitongole omuli UMEME, NSSF, KCCA, URA, amakampuni omuli MTN, WARID, Nile Bereweries ne Coca Cola be basinga okusasulwa omusaala omusava.

Ate okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu mwaka 2011 aba CEO bano bo baazuula nti abantu abasinga okusasulwa omusaala omunene mu ggwanga be bano;

Kyokka bw'oba okyatenda abo, ate bo abasuubuzi tebabamanyi mu kufuna ssente kubanga bakung'aanya nnusu ku nnusu buli lunaku. Bali gye balindira omwezi okuggwaako, abasuubuzi baba basekera mu kikonde anti bo bafuna buli ddakiika. Abamu ku basuubuzi ssente be ziyitaba baabano;

1 Lawrence Mukiibi; nnannyini masomero ga St. Lawrence. Yatandika mu 1992 bwe yazimba St. Lawrence School e Mengo. Mu kiseera kino alina amasomero agasukka mu 4 era azimbye ne yunivasite ya St. Lawrence e Lubaga.

2 Moses Kalungi; ono abasinga bamuyita Bill gates, yaliko ssentebe w'eggombolola y'e Makindye. Obugagga bwe batwandika mu myaka gya 1990. Bannakampala bamujjukira nnyo bwe yaleetanga empale eza 'Sheriff'entungire ddala n'abawonya okuyombanga n'abatunzi abaatunganga empande.

3 Dick Kizito; obugagga bwe atandise okubuzimba mu myaka gya 1990. Ye nnannyini kizimbe ekiyitibwa Kizito Towers ku Luwum Street alina n'ebizimbe ebirala mu Kampala.

4 Mutaasa Kafeero, y'omu ku bagagga abapya abazimbye Kampala. Alina ekizimbe kya Mutaasa Kafeero ku Burton Street, Zainab Aziiza Imporium okuliraana omuzigiti gw'e Nakasero n'ebizimbe ebirala e Nakasero okuliraana C.P.S.

5 Omar Mandela, azimbye amasundiro g'amafuta mu Kampala ku Ben Kiwanuka ne Bombo Road. Alina ekizimbe ekiyitibwa White House. Ye nnannyini City tyres kkampuni etuusa emipiira gy'emmotoka ne sipeeya.

6 Godfrey Kirumira, y'omu ku bagagga abaludde mu kibuga Kampala. Ye nnannyini Kirumira Towers ne Royal Complex. Alina ebizimbe ebirala ku Nassar Road. Alina wooteeri eya International e Muyenga n'amaduuka ga Supermarket eza Tuskies.

7 Charles Mbiire, alina emigabo mu kkampuni y'amasimu eya MTN- era alina ebizimbe mu Kampala. Mbiire alina ebyobugagga ebiwera mu Kampala. Alina ennyumba amatiribona e Kololo.

8 Mohan Kiwanuka, ye nnannyini 'Radio One ne Oscar Industries'. Alina n'ebizimbe mu Kampala.
Ono ye bba wa minisita Maria Kiwanuka.

9 Hassan Bassajjabalaba, ye nnannyini Kampala International yunivasite e Kansanga, Rena Hotel ewa Bbakuli, ekizimbe kya City Complex e Nakasero era alina n'ekibanda ky'emmotoka.

10 Captain Roy (mukugu mu byennyonyi), alina kkampuni y'entambula y'ennyonyi eya Dairo Air Cargo. Ye nnannyini Conrad Plaza ekisangibwa ku Ntebbe raod. Alina n'essamba z'ebimuli.

11 Brahimu Muwanga Kibirige (BMK), ye nnannyini wooteeri ya Africana mu Kampala era alina BMK Health Club, BMK Heavy Machinery, BMK Industries (efulumya obuveera). Alina ebizimbe mu Ndeeba, e Kansanga n'awalala.

12 John Ssebaana Kizito, ye nnannyini kizimbe kya Sure House ku Bombo Road. Alina n'ebizimbe ebirala mu Kampala, alina ekizimbe e Kansanga okuliraana International yunivasite, bbiici ya Ssebo Green beach e Bukasa n'ettaka eriwera mu Kampala.

13 Gordon Wavamunno. Bwosoma akatabo ke ka 'Wavamunno', akulaga olugendo lwe olulaga bwe yavugako ku takisi za sipesulo mu 1960. Oluvannyuma yagula bbaasi ze yapangisanga nga kkampuni yagituuma Rugaaga bus service. Yatandika bizinensi omuli ey'entambula, eya bbank, wooteeri, yinsuwa, okulima n'okusuubula mmotoka eza bbenzi. Ye nnannyini kkampuni ya Spear Motor's etuusa bbenzi eziva mu Germany alina ebizimbe ku Jinja Road omwali bbanka ye eya Nile Bank nga kwe kuli ne ttivi eya WBS. Alina kkampuni omuli; G.M. TUMPECO, Wava Holdings, Spear House, Wava water, Batunga Quarry, Radio Simba, WBS, Nile Bank, United Assurance Company, Nakwero farm ne Victoria Flowers Ltd esangibwa e Ntebe okuliraana ekisaawe kye nnyonyi.

14 Agnes Babirye Namubiru, yatandika obusuubuzi mu Kampala mu myaka gya 1980 era y'omu ku bakazi abazimbye ebizimbe mu Kampala. Ye nnannyini H.B Plaza, ekizimbe kya Park View ekitunudde mu ppaaka enkadde n'ekizimbe kya Joinus mu Ndeeba.

15 Mansoor Matovu (Yanga), ye nnannyini kizimbe ekiyitibwa Zainab ku Luwum Street, Sun Set ne Ivory Building.

16 John Ssebalamu, ye nnannyini kizimbe kya Mini Price, Container Village, Freedom City e Namasuba, Titanic Plaza ku Wilson street, n'ebirala.

17 Drake Lubega, alina ebizimbe mu Kampala okuli; S.B Plaza, Qualicel bus terminal, majestic Plaza ne Energy Centre.

18 Muwonge John Bosco, alina Cooper Complex, Gaggawala Shauriyako, Boston, Katikati n'ebirala.

19 Chiritine Nabukeera, alina Nabukeera Plaza, Nana Arcade ne Trusted Arcade mu Kampala.

20 Edward Mperese, alina wooteri n'ebifo ebisulwamu omuli Tourist Hotel, Lusam Inns, Samalien Hotels.



--
"My best songs: http://soundcloud.com/kibirige64/arise-final-mix,  http://soundcloud.com/kibirige64/revolution-final-mix,  http://soundcloud.com/kibirige64/president-final-mix

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers