UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Some of Ebyaffe Properties Returned To Buganda

Buganda
Ebimu ku Byaffe Museveni by'azizza
Kampala | Aug 05, 2013
Embuga ya Kayima e Mawokota



 

 

 

Bya MUSASI WAFFE

MU 1993: Yayongera amaanyi mu mirimu egikolebwa abakozi b'Obwakabaka bwa Buganda. Yayongera amaanyi mu kibiina kya Ssuubi lya Buganda.

MU 1994: Yazzaawo Bulungibwansi, yatandikawo ekitongole kya BUCADEF era yalonda Joseph Mulwannyammuli Ssemwogerere okubeera Katikkiro.

MU 1995: Yasisinkana Paapa John Paul II e Roma, yalambula amasaza Kyaggwe, Bulemeezi, Buddu era n'alangirira nti agenda kuyingiza abavubuka, abakyala n'abayivu mu Lukiiko.

Embuga ya Mugerere e Bugerere

MU 1996: Yasisinkana abavubuka abava e Busujju n'abawa amagezi okuva mu bibuga okudda mu byalo balime n'okulunda. Yatalaaga Obuganda n'akunga abantu okugemesa abaana baabwe.

MU 1998: Yazzaawo abaami b'amasaza, ab'amagombolola n'abatongole.

MU 1999: Yawasa Nabagereka mu Lutikko e Namirembe.

MU 2001: Yazaala Sarah Katrina Mirembe Ssangalyambogo Nachwa.

MU 2005: Yalonda Dan Muliika okubeera Katikkiro.

Ebyaffe mu Busujju ewa Kasujju bituddiziddwa

MU 2007: Yalonda J.B Walusimbi okubeera Katikkiro. Yatandika yunivasite ya Muteesa I Royal, kyokka ng'abayizi abaagisookamu baayingira mu 2011.

MU 2008: Yayongera amaanyi mu byobulamu naddala okugema abaana.

MU 2009: Yazimbira Nabakooza eyakweka kitaawe Ssekabaka Muteesa 11. Yassaawo ensawo ya Kabaka ey'ebyenjigiriza.


Mawogola ewa Muteesa nayo biteredde

MU 2011: Ayongedde amaanyi mu byobulimi ng'essira aritadde ku nnima ey'omulembe bwe yatongoza abalimi abagundiivu mu bitundu abalina okusomesa abantu be ennima ey'omulembe. Omulangira Richard Ssemakookiro azaalibwa.

MU 2012: Yatongoza eng'oma Obugandabumu bwe yali aggulawo Olukiiko. Yakubiriza Bannaluweero okujjumbira okulima kubanga buli gye yayitanga ng'alaba nsiko bwe yali akyaddeyo.

MU 2013: Kabaka alonda Charles Peter Mayiga ku Bwakatikkiro. Akubirizza abavubuka naddala abasoma okweggyamu emize gy'okwekalakaasa.

Amaka ga Luweekula e Buweekula

Ebiddizziddwa Buganda

1 Embuga z'amasaza n'amagombolola

2 Ettaka ly'Obwakabaka lyonna mu bibuga n'obubuga.

3 Poloti esangibwa ku kibanja nnamba 52 ku Kampala Road.

4.Ennyumba ya Buganda eyitibwa Muteesa e London mu Bungereza.

5.Okuzza obuggya liizi z'ettaka ezaali zaggwaako.

Kaggo e Kyaddondo afunye w'alamulira

6.Okusasula obuwumbi 20 Mmengo z'ebanja gavumenti

7.Kabaka okwetaaya mu Buganda ne Uganda yonna awatali amukuba ku mukono.

8.Ebizimbe gavumenti by'ebadde epangisa yaakugenda mu maaso n'okubipangisa.

9.Abanyala n'Abaluuli bajja kusigala nga batudde ntende mu bitundu byabwe

10.Mmengo tejja kwogereranga gavumenti ya wakati mafuukuule.

Embuga Kkweba e Ssese nayo etuli mu ttaano

Ebyaffe mu Busiro ewa Ssebwana.

Akatale k'e Wandegeya akali mu kudaabirizibwa KCCA kati ka Buganda1

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers