UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Ebyaffe mu Buddu: Ettaka ly’embuga abakulembeze ba disitulikiti balitunze liweddewo

Ebyaffe mu Buddu: Ettaka ly'embuga abakulembeze ba disitulikiti balitunze liweddewo
Kampala | Oct 14, 2013
Ekizimbe ky'olukiiko e Buddu.


 

Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA

BUDDU ly'erimu ku masaza ga Buganda ery'ettuttumu ng'alikulira ayitibwa Pookino ng'amaka ge gali ku kitebe ekyatuumwa Ssaza e Masaka.

Bapookino bangi abazze bakulembera Buddu ng'ow'ekiseera kino ye Charles Kiyimba Kwewaayo ayambibwako abamyuka basatu okuli Hajji Bbuulu Katale, Saalongo Jolly Njawuzi ne Edward Muguluma.

Olubiri lw'e Nkoni mu Lwengo n'olw'e Lukunyu mu nnyanja Nalubaale n'ebifo by'obuwangwa ebisoba mu 37 bye bimu ki bikola ebyaffe mu Buddu.

Nga bwe kyali wonna okugabira ebitebe by'amasaza n'amagombolola ettaka, ne Buddu yagabana mayiro munaana okutuuzaako ekitebe kyayo kyokka ebyembi Gavumenti w'egendedde okuddiza ebimu ku Byaffe, ng'ettaka eriyinza okwogerwako ng'erisigaddewo likola yiika 32, ng'endala zeesenzebwako.

Bano tebeesenzaako bokka wabula baaguzibwa abamu ku bakungu abazze bakulembera Disitulikiti y'e Masaka okuviira ddala ku mulembe gwa Idi Amin Dada eyaggyawo enkola y'obwannannyini bw'ettaka n'alizza mu mikono gya Gavumenti eya wakati.

Abakulembeze abaaliwo obudde obwo n'abaabaddira mu bigere guno baagulaba ng'omugano ne beegabira ebitundu nga bwe babiguza ababyetaaze.

Ensonda zaategeezezza nti abamu abaatunda baagabiranako ebyapa ebitamanyiddwa ngeri gye baabifunamu na ku kyapa ki kwe baabikutula nga ne w'osomera bino waliwo amayumba agali ku misingi n'agawedde okusereka gattako agaggyibwako edda engalo.

Pookino

Mu nkola ey'ekivandulo, waliwo n'omugagga omu gwe baali baguzizza ogubangirizi ogwabangamu 'ekisibo' oba 'olugo' omwakung'aanyizibwanga amakula ga Beene n'oluvannyuma ng'emmotoka w'esinziira okugakima ne gatwalibwa embuga.

Ogubangirizi guno gusalira ddala emmanju w'amaka ga Pookino n'agomumyuka we ng'era mu kiseera kino gulimu ekiyumba kya kkalina ekitaggwa nga kigambibwa nti abakulu bwe baalaba nga baswadde nnyo ne bategeeragana n'omugagga ne bamuddizaako ssente.

Vvulugu ono agambibwa okukolebwa wakati wa 1987 ne 1995 naye nga bagamba nti ettaka lino okutundibwa kwanyiinyiitira luvannyuma lw'olutalo lwa 1979 mu kiseera ekyo Pookino n'abakungu be lwe baasindiikirizibwa okuva mu mbuga eno.

Abakungu b'obukiiko bw'ettaka obwa Disitulikiti bano basongebwamu nnyo olunwe ng'ababadde mmo mu kujingirira ebyapa bye basonjolerako obuguzi olwo ne bagabana omunyago n'aba Munisipaali ne Disitulikiti.

Ekizimbe ky'embuga y'essaza (ku kkono) kikyalimu ofiisi za disitulikiti. Kumpi n'ekizimbe kino wazimbwawo ekirala (ku ddyo.)

Mu munyago guno gwonna kigambibwa nti Pookino nga nnannyini, talina kye yafuna era ebizimbe ebimu eby'omulembe by'olaba mu Masaka bitudde ku ttaka lya Bwakabaka nga bisoloozebwako ssente ezidda mu ggwanika lya Munisipaali.

Waliwo n'ebifo bingi ebyanyagibwa okwetoloola essaza lyonna ofiisi ya Katikkiro by'etandisseeko okunoonyereza okulaba nga biddira Obwakabaka nga baalagidde Disitulikiti ebikoleko lipooti.

Ggombolola ezasooka okukola Buddu ye Mumyuka Kalungu, Musaale-Butego, Ssabawaali-Bukoto, Ssabagabo-Kyannamukaaka, Ssabaddu-Kaliisizo, Mutuba I, Buwunga, Mituba II-Bukulula, Mituba III-Mukungwe, Mituba IV Kyebe-Kanabulemu ne Mituba V-Kakuuto.

Endala ye Mituba VI-Katwe, Mituba VII-Lwengo, Mituba VIII-Kasaali-Kyotera, Mituba 9-Kabira, Mituba 10-Kyamuliibwa, Mituba 11-Bigasa, Musaale-Butenga n'endala nga zino zonna zaagaba yiika 49 buli emu.

Wabula ggombolola ezisinga zaasigazaawo buwugiro nga Buwunga so nga ne gye buvuddeko ab'e Bukulula baagugulana n'abakungu ba Gavumenti abaalitundako ekitundu lisimwemu amayinja g'enguudo.

Olubiri lwa Kabaka e Nkoni.

Omutaka John Batista Kasumba Balitta (90) ow'e Kitebi agamba nti yakolera Gavumenti y'e Mmengo emyaka egisoba mu 30 n'okusinga ennyo essaza ly'e Buddu mu wofiisi y'ebyensimbi n'okubala ebitabo ng'ali ne Christopher Sserugeye Bajjanejaabwe Lukomola.

Balitta annyonnyola nti ba Pookino be yakolako nabo ye Joseph Sseppuuya ne Diisi Paulo Kaweesa Kirinnya n'omusigire we Joseph Nyonyintono nti era amaka g'omumyuka wa Pookino gaabanga Kyakumpi nago nga gaali gatudde ku yiika 49 nga kuliko n'ekibira kya Kalittunsi.

Ekirungi ofiisi ya Pookino yatandika olutalo ku baatwala ettaka lino ne bagattako n'ebibira by'Obwakabaka ebirala okuli ebiri mu Kalungu ne mu Masaka era omumyuka wa Pookino asooka Hajji Bbuulu Katale agamba nti baalagidde buli ali ku ttaka lya Kabaka yeewandiise.

Embuga ya Musaale-Butego eno esuulwamu abaserikale b'eggye ezzibizi kyokka ettaka lyayo erinawo kakoloboze.

ABA DISITULIKITI KYE BAGAMBA

Ssentebe wa Disitulikiti y'e Kalungu Emmanuel Musoke agamba yiika 49 ezaagabanwa Ggombolola y'e Kalungu kati mwe bakakkalabiza emirimu gya Disitulikiti zonna we ziri mpozzi n'abalimirako obulimizi emmere.

Musoke agattako nti balindiridde entegeka yonna ennaava e Mmengo kwe bajja okutambulira nti mu mwaka gw'ebyensimbi guno baataddemu obukadde 12 ez'okugulamu ekifo ekyabwe kwe bannaazimba ofiisi za Disitulikiti.

Kyokka ekyapa ky'eggombolola takirabangako nti naye abasenze abatonotono abaliriko bonna bakimanyi nti bali ku ttaka lya Buganda mpaawo yeetwala nga nnannyini.

Ate ye Ssentebe wa disitulikiti y'e Masaka, Joseph Kalungi agamba nti baawandiikidde minisita wa Gavumenti ez'ebitundu Adolf Mwesigye ebbaluwa gye baawaddeko ofiisi ya Pookino nga baagala balambikibwe ku ngeri gye baba batambuzaamu ensonga y'Ebyaffe.

Kalungi agamba nti kituufu ettaka ly'embuga y'essaza lyasengebwako abantu nti bo tebabalinaako buyinza ng'enkola entuufu ejja kuva Mmengo.

Waliwo n'ebifo by'obuwangwa n'ennono okuli n'embuga z'ebika kati ebifu-ng'amyemu abantu abalala okuli n'Abalokole ng'era Ssaalongo Kiggundu ayagala Mmengo eveeyo n'entegeka ennungamu ey'eddiza ebifo ebyo.

Agamba nti ebifo bino bisobola okukulaakulanyizibwa ne bifuuka ebifo by'obulambuzi ne biyambako mu kuwanirira eggwanika lya Buganda okuva mu balambuzi.

Ate Hajji Bbuulu Katale agamba nti baagala bamale okufuna ebipimo ebituufu ku ttaka ly'essaza n'ery'amagombolola kibayambe okumanya bantu bameka abali ku ttaka ly'Ebyaffe na ngeri ki gye baggyamu.

"Abatulowooleza mu kubapangisa ssi be batusalirawo eky'okukola, batuddize embuga zaffe tukoleremu emirimu gy'embuga awalala twekulaakulanyizeewo nga tuzisaamu amatendekero g'ebyemikono era be twagaana okuzimba batuyambe tebazimba", Bbuulu Katale bwe yagambye.

Hajji Katale agumizza abasenze nti mpaawo ajja kubatwalaganya kasita bakkiriza okusigala ng'abasuze ku ttaka lya Ssaabasajja nti era ofiisi ya Katikkiro terina nteekateeka yonna eguza muntu n'omu poloti yonna.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers