UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} ABASIRAAMU MUKOPPE ABAGANDA-IMAAMU

BYA AHMED KATEREGGA

IMAAMU akubirizza Abasiraamu okulabira ku Baganda abasonze ettoffaali ly'okuzzaawo amasiro g'e Kasubi, nabo babengako pulojekiti emu gye basondera ebasobozesao kwezimba n'okukulakulanya eddiini yaabwe.

Ng'Abuulira mu kusaala Juma ku muzikiti gwa Mukwano mu kitundu ky'amakolero, Sheikh Umaru Mubiru agambye nti "Abawaalimu bangi bazze boogera ku ky'okusonda ettoffaali okuzzaawo amasiro. Naye nammwe Abasiraamu musobola okukola ekintu kye kimu ne mubaako pulojekiti gye mukulakulanya, oba kuweererera baana mu busawo, kuzimba dwaliro oba somero, n'ebirala.

Sheikh Mubiru yagambye nti kaweefube ng'ono ng'agenderera kwongera kutendeka baana bawala mu busawo, abakazi abasawo bajjanjabibwenga bakazi bannaabwe taba mubi. "Abazaalisa abamu basajja, tusobola okusonda ettoffaali ery'okwongera okutendeka abasajja mu buzaalisa," bwatyo bwe yagambye.

Kwekutegeeza nti Abaganda abasonze ez'ettofaali tebabadde ba ndowooza emu ey'ebyobufuzi oba endala zonna nti naye bassizza kimu nga nkuyege ng'abaana ba Kintu ne Nambi, endowooza zaabwe endala ne bazisiba ku mpagi. "Mu ngeri y'emu naffe tusobola okussa enjawukana zaffe ku bbali bwetuba nga tuli mu kusonda etoffaali ly'Obusiraamu," bwatyo bwe yategeezezza.

Sheikh Mubiru yabuuliridde abazadde okufissangawo akadde ak'okubeerangako n'abaana baabwe baleme kubalekera kukuzibwa bakozi bokka. "Oba okola okuva ku mMande okutuuka ku Lwokutaano, kati emicakalo gy'oku nkomerero ya wiiki gy'esonyiwe obeereko n'abaana bo," bwatyo bwe yabuuliridde.

Yalabudde Abasiraamu okukimanya nti tebayinaayo biseera bya ddembe mwe balina okutigukira obutigukizi n'agamba nti buli kaSEERA BABEERAKO BAMALAYIKA BABIRI, OW'OKU MUKONO OGWA DDYO AWANDIIKA EBIRUNDI N'W'OKU MUKONO OGWA KKONO AWANDIIKA ebibi. "EBBULA BIKOaLWA LYA KABI NNYO ERI OBULAMU BW'OMUNTU," BWATYO BWE YATEGEEZEZZA.

Kwe kubuulirira abafumbo nti nga tebannaba kuyyita mutabaganya gwe yagambye nti basaanidde bombi okumukkanyaako, nti basaanidde okwegonjiollera okuwogana kwabwe bokka na bokka, nti kubanga absatu basattulula ebigambo.

ENDS…

 

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers