{UAH} Museveni agenda kuddiza Mmengo ebyapa byayo mu Kampala(M7 to return property stolen by Obote in 19660
LEERO (Lwakubiri) Pulezidenti Yoweri Museveni agenda kuddiza Buganda ebimu ku bintu ebyagiwambibwako Gavumenti ya Milton Obote mu 1967.
Omukolo gugenda kubeera mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe ku ssaawa 4:00 ez'oku makya. Endagaano y'omwaka oguwedde wakati wa Buganda ne Gavumenti yandiba ng'evuddemu ebibala.
Mu mwezi gwa February, 2014, akulira akakiiko Kabaka ke yalonda okulondoola ettaka lya Buganda, Apolo Makubuya yasabye Gavumenti okussa mu nkola ekisuubizo kyayo eky'okuddiza Buganda ebintu byayo.
"Olukalala lw'ebintu byonna Buganda by'ebanja Gavumenti twalugiwa omwaka oguwedde kati kye tulinze lwe lunaku lwe banaatuyita batuddize ebyaffe," Makubuya bwe yagambye.
Yagasseeko nti, akakiiko akakola ku by'ettaka akakulirwa Baguma Isoke ke kaaweebwa obuvunaanyizibwa okulaba nga bafukuuza ebyapa byonna ebya Buganda we biri bizzibwe e Mmengo ng'endagaano Pulezidenti Museveni gye yakola ne Mmengo bw'egamba.
Makubuya yagambye nti talina kutya kwonna nti Gavumenti tejja kuzza bintu bya Buganda naye asuubira nti ekirwisizzaawo okussa mu nkola ebintu bino gy'emitendera egiri mu kakiiko ka Gavumenti akakola ku by'ettaka.
Wammanga lwe lukalala lw'ebimu ku bintu bya Buganda akakiiko lwe kaatwalirira Gavumenti ;
- Ettaka lya Katikkiro yiika 14.31, ettaka lya Namasole wa Buganda yiika 50, ettaka ly'eggombolola Mutuba 1 Kyaddondo, yiika 49, Ssaabagabo Makindye yiika 49, mumyuka Nakawa yiika 49, omulamuzi wa Buganda, yiika 22, ow'essaza mawogola 3.22 Rubaga hill, ow'essaza mawogola yiika 0.32 Kyadondo.
- Ettaka eddala mulimu; erikozesebwa ekitongole kya KCCA, lino Buganda yaliwa gavumenti enkuumi ku nkola ya liizi ey'emyaka 99.
- Ettaka erya Poloti 52 ku Kampala Road awaali ekyapa kyamwaulire ga Buganda aga 'Akiika embuga'.
- Ettaka lya Poliisi y'e Nateete. Ettaka ly'amagombolola mu kibuga; erya mumyuka Nakawa, kati awali kkooti ye Nakawa, wano we waali ggombolola ya mumyuka Nakawa, ettaka okutudde enkambi y'amagye e Mbuya n'ettaka okuli akatale k'e Nakawa.
- Ettaka okuli akatale k'e Nakulabye ssaako akatale k'e Wandegeya ne Bbakuli. Ettaka erisangibwa mu kibangirizi ky'abannamakolero awali amapipa g'amafuta aga Shell, wano waaliwo nsuku za Katikkiro era nga ne katikkiro Paul Kavuma wano we yasoloozanga busuulu okuyimirizaawo ofiisi y'obwakatikkiro.
- Ettaka okutudde enkambi y'amagye e Makindye, ettaka okuli kkooti e makindye n'ekitebe ky'eggombolola y'e makindye.
- Ettaka lya Kisenyi ku mbuzi eryali ery'omuwanika awaali ekkomera lya Njabule. Ettaka awali social center mu Kisenyi okutuukira ddala ku lubiri lya Muwanika.
- Ettaka ly'Omulamuzi e Rubaga awali ofiisi za City council awaali ggombolola y'omukulu w'ekibuga e Rubaga. Yagambye nti ng'oggyeeko ettaka, Buganda era yalina emigabo mu bitongole bya Gavumenti omuli n'ekyali UEB (kati Umeme).
Abali ku kakiiko kano akakiiko akalondoola ebintu bya Buganda kuliko; omulangira David Wasajja, Apolo Makubuya, Ben Matovu ne William Nagagga.
Ebirala ku Byaffe....
Endagaano ya Museveni ne Kabaka mu bujjuvu;
BUGANDA-UGANDA GOVT Agreement August 1, 2013
Buganda agreement NEW VISION - 2013.docx
http://www.bukedde.co.ug/news/77694-museveni-agenda-kuddiza-mmengo-ebyapa-byayo-mu-kampala.html
0 comments:
Post a Comment