{UAH} OKULANGA KW 'EMIKOLO GY'OKUJJUKIRA OLUNAKU LW'ABAZIRA 24 MAY 1966
OKULANGA KWE EMIKOLO GY'OKUJJUKIRA OLUNAKU LW'ABAZIRA
24 MAY 1966 - OLUKIIKO LWA BAZZUKULU BA BUGANDA INTERNATIONAL
20/05/2014
Buli ategedde ategeeze gwe kikwatako. Abantu baffe abattibwa tebafiira bwemage. Tulina okubajjukiranga, nga tubasaamu ekitiibwa kubanga bafiiriria ensi yabwe, okutegeeza abo abaataliwo, okuyigiriza abo abato. Eggwanga elitajjukira byaliwo, ebyafaayo byalyo, telisobola kuteerera mu kiseera ekiliwo, era teligenda mu maaso.
Ne Mukama Katonda atugamba okujjukiranga ebyo ebyafaayo era byonna byawandiikibwa naffe tusobole okubimanya era bituyambe mu kutambula kwaffe munsi eno, ate tuyigirize abato abanatuddila mu bigere.
Amakanisa gonna mu Buganda gasaanye gatandikewo okusaba okwenjawulo wonna. Nago ageyita agaBalokole.
24 MAY 1966 - OLUKIIKO LWA BAZZUKULU BA BUGANDA INTERNATIONAL
20/05/2014
Olukiiko lwabazzukulu ba Buganda International.Lujjukiza Abaganda mwena abatali bataka abakulu b’obusolya bwe bika bya Baganda nti muli Bazzukulu. N’olwekyo fenna tujja kukunganira awo ewa Musolooza - ekibanja ekitunudde munyumba ya Kisingiri awabeera enfuddu, kuluguddo lwa Kabakanjagala nga 24/05/2014; essaawa 4.00 ez’okumakya. Ffenna abazzukulu wetujja okusimbuka twolekeere mu Lubiri e Mmengo okwetaba ku mikolo egy’okujjukira nga bwegiweze emyaka 48 okuva amagye ga Obote lwegalumba Obuganda mu 1966. Emikolo bweginaggwa tujja kudda awo era ewa Musolooza tufune olwendo lw’amazzi olutegekeddwa olukiiko lwammwe.
Ssabassajja Kabaka Awangaale
Mubiru Njuki
Omuwandiisi – Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda International
Ssabassajja Kabaka Awangaale
Mubiru Njuki
Omuwandiisi – Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda International
Buli ategedde ategeeze gwe kikwatako. Abantu baffe abattibwa tebafiira bwemage. Tulina okubajjukiranga, nga tubasaamu ekitiibwa kubanga bafiiriria ensi yabwe, okutegeeza abo abaataliwo, okuyigiriza abo abato. Eggwanga elitajjukira byaliwo, ebyafaayo byalyo, telisobola kuteerera mu kiseera ekiliwo, era teligenda mu maaso.
Ne Mukama Katonda atugamba okujjukiranga ebyo ebyafaayo era byonna byawandiikibwa naffe tusobole okubimanya era bituyambe mu kutambula kwaffe munsi eno, ate tuyigirize abato abanatuddila mu bigere.
Amakanisa gonna mu Buganda gasaanye gatandikewo okusaba okwenjawulo wonna. Nago ageyita agaBalokole.
Rev. Jessica
“Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go.” (Joshua 1:9)
0 comments:
Post a Comment