UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} KABAKA birthday run in pictures


12th April 2015

Kabaka atuuse mu Lubiri ku Ssaawa emu zennyini ez'okumakya nayanirizibwa Katikkiro Charles Peter Mayiga wakati munduulu n'emizira okuva mu nnamungi w'omuntu eyakadde okudduka emisinde gy'amazaalibwa.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Abantu nga baatuuse mu kifo webasimbulira ku ssaawa kkumi na bbiri.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Abantu baakedde nnyo okusobola okukwata obudde.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Katikkiro C.P.Mayiga (wakati),R.Kabushenga(mu mpale ennyimpi),

Owek. Ssekabembe ne Kaggo, nabo baakedde.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Minisita w'eby'emizannyo H. Ssekabembe ne Robert Kabushenga nga batuuka.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Abantu bano baayingidde olubiri ku Ssaawa Kkumi na Bbiri ez'okumakya

era obwedda bawanise ebifaananyi bya Ssaabasajja.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Baminisita ba Ssaabasajja nga bamulindiridde okumwaniriza.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Wano Katikkiro nga akulembeddemu ba Minisita b'emengo okwaniriza Beene.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Ssaabasajja nga abuuza ku Mutaka Kayiira Gajuule.

Oluvannyuma Ssaabasajja awuubye bendera ya Buganda naasimbula abaddusi mu biwayi bya mirundi esatu nga asoose naaba kilomita 21km,10km ne 5km ku Ssaawa emu neddakiika kkumi(7:10pm).

Omuddusi omukulu Omulangira David Wassajja adduse kilomita 21 era kimutwalidde essaawa bbiri nambirira okumalako olugendo luno.

 

 

 

 

 

 

 

 

Ssaabasajja nga asimbula emisinde.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Omumbejja Sarah Katrina Ssangalyambogo naye yadduse

era obwedda awerekebwako abantu abenjawulo.

Abayimbi ne bannabyabufuzi nabo babaddeyo omuli;Ken Lukyamuzi, Betty Nambooze Bakireke nabalala bangi.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Omuyimbi Eddie Kenzo(asooka waggulu) naye yadduse ne banne.

Abaana abato nabo basobodde okudduka era obwedda bayambibwako bazadde baabwe okusobola okumalako.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Omwana ono yewunyisizza abantu,

obwedda adduka ate nga musanyufu nnyo.

Minisita Omubeezi mu ofiice ya Katikkiro, Noah Kiyimba

naye yadduse era naamalako.

Abazungu nabo baawulidde omulanga gwa Ssaabasajja

era bajjumbidde nnyo.

Abayimbi omuli Bebe Cool, Ronald Mayinja, Eddie Kenzo nabalala, basanyusizza abantu era babakubye emiziki nebakyamuka.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye abantu omutima gwebalaze nga badduukirira abakyala abalwadde ba Fistula era abakubirizza okukolanga dduyiro okusobola okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu bulungi.

Katikkiro era asiimye abavujjirizi bensimbi abasobozesezza omukolo okutambula obulungi.

Mubatadde ensimbi mu mikolo gy'amazaalibwa ga Kabaka mwemuli; Airtel Uganda, MAAD Advertising, Rwenzori water, Bukedde Tv, Post bank, Events warehouse nendala nnyingi.

 

 

 

Abantu bajjumbidde emisinde era bazze mu bungi.

--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers