{UAH} MORE FOR HAJD AND UMURA NEXT YEAR GOD WILLING
Friday, October 21, 2016
• Namayanja yeeyamye ku ky'okutwalanga Abasiraamu okulamaga
By Ahmed Kateregga
Added 10th October 2016
OMUWANIKA wa NRM, Muky. Rose Namayanja Nsereko yeeyamye nti buli mwaka
mukama we, Pulezidenti Yoweri Museveni waakutwalanga Abasiraamu
okulamaga olugendo olutukuvu olw'e Makka n'e Madiina.
Rose Namayanja

Namayanja, yagambye nti Pulezidenti okutwala abalamzi 91 ku 877
abaalamaze omwaka guno nga basasulirwa mukulu munne, Pulezidenti Omar
Hassan El Bashir owa Sudan, kituuza butuuza ng'okutandika n'omwaka
ogujja agenda kutwala abalala bangi.
Bino yabyogeredde ku mukolo gw'okwebaza ogwategekeddwa Hajjati Aisha
Mbabaali, omukozi ku gwandiikiro lya NRM ogwabadde mu maka ga bakadde
be e Katuuso mu muluka gwa Kiruddu - Buziga, e Makindye ku Lwomukaaga.
Omukolo gwetabiddwaako Bahaji ne Bahajati 'abagole' naddala abo
abaasasulirwa Pulezidenti Museveni ne Pulezidenti Bashir.
Ate omukulu w'ettwale ly'e Kibuli, Sheikh Lubega yeebazizza
Pulezidenti Museveni okulowooza ku Basiraamu n'abasasulira Hijja ne
Umura n'amusaba asiramuke naye kennyini asobole okulamaga.
Bino yabyogeredde ku duwa ya ssentebe wa NRM mu Makindye Haji Hussein
Lukyamuzi Kakooza eyabadde mu makaage e Kyamula mu muluka gw'e Salaama
ku Ssande.
Sheikh Lubega yagambye nti y'akakola Hijja ssatu, era alina abakyala
bana n'abazzukulu 85.
Omukolo gwetabyeko omubaka; Allan Ssewannyana (DP Makindye West) ne
Meeya wa Makindye, Mw. Kasirye Mulyannyama eyasuubizza naye okukola
Hijja omwaka ogujja, Mukama Katonda bw'anaaba ayagadde.
--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com

0 comments:
Post a Comment