UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] Gav’t. eddizza Buganda ettaka

Otyoo!!!!
 
Gav't. eddizza Buganda ettaka
Apr 30, 2013
Byabashaija mu kakiiko.


Bya Muwanga Kakooza

GAVUMENTI eddiza Buganda ettaka okuli ekkomera ly'e Kigo.

Omuduumizi w'ekitongole ky'amakomera Dr. Johnson Byabashaija yagambye nti ettaka lyonna okuli ekkomera lyaddiziddwa Buganda ng'ekisigadde bizimbe by'amakomera n'ebyo omusula abaserikale ebijja okuweebwayo singa okuzimba ekkomera eppya e Kasanje kuggwa.

Bino Byabasaija yabigambye bannamawulire nga yaakava mu kakiiko ka palamenti aka gavumenti z'ebitundu n'ebyokwerinda akaakubiriziddwa Milton Muwuma gye yasoose okukisinnyizaako ng'ettaka ly'ekkomera ly'ekigo lyonna okutali bizimbe bwe lyaddiziddwa Buganda.

Yagambye nti gavumenti etegeka okukola okuzimba ekkomera eddala e Kasanje gy'egenda okusengulira abasibe. Yagambye nti ettaka lyafuniddwa era kuliko abalikuuma lireme kusengebwako bantu balala era okuzimba bwe kunaggwa ng'abasibe basengulwa  ng'ebizimbe nabyo biddizibwa Buganda. Kyokka teyayogedde kiseera ki kuzimba kkomera we kunaggweera. Yagambye nti baamaze okulanga nga baagala ekitongole oba omuntu agenda okubawa amagezi ku ngeri y'okuzimbamu ekkomera eppya. Yannyonnyodde nti Buganda tennaba kuliyirirwa olw'ekiseera gavumenti ky'emaze ng'ekozesa ettaka eryo.

Okusinziira ku Byabashaija, ettaka ly'e Kigo liweza yiika 300. Era okuzimba ekkomera eppya kusuubirwa okuwemmenta ensimbi eziri mu buwumbi.

--
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans and Africans in general. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
 
 

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers