[UAH] Abaganda b’omu Ankole basabye Kabaka asiime abakyalire
Bya Ali Wasswa
ABAGANDA ababeera mu Ankole ne Kigezi basisinkanye ne basaba Ssaabasajja Kabaka Mutebi II asiime abalambule n'okulaba enkulaakulana gye batuuseeko.
Okusaba kuno baakuyisizza mu mukulembeze waabwe, Haji Mutaasa Kafeero ne Imaamu Makumbi mu kiwandiiko ekyasomeddwa mu lukung'ana lw'okutongoza ekibiina ky'Abaganda b'omu Ankole lwe baatuuzizza mu Hotel ya Haji Ssempala omusuubuzi omututumufu mu Mbarara, ku Ssande.
Bannyonnyodde nti kino kijja kwongera Abaganda mu Ankole okufaayo okumanya gye bava n'ennono zaabwe.
Olukung'aana lwetabiddwaamu omukungu w'e Mmengo, Ssewava Sselubiri, eyakiikiridde omumyuka wa Katikkiro asooka, Gerald Ssendaula.
Mu lukiiko luno, Haji Mutaasa yayanjudde Ssemateeka w'ekibiina ky'Abaganda b'omu Ankole ekyatongozeddwa
era n'asaba Abaganda obuteefeebya nti kuba enkulaakulana mu Uganda yeetooloolera ku Buganda.
"Tuli basanyufu okulaba nga Ssaabasajja asiimye n'awa egimu ku mirimu Abaganda okuva mu Ankole okugeza nga Haji Makumbi gwe yalonda okuba ssentebe w'Abaganda b'omu Ankole," Mutaasa bwe yagambye.
Ssewava mu kwogera kwe yategeezezza nti Buganda egenda kukuza emyaka 20 bukya Ssaabasajja atuuzibwa ku
nnamulondo nti kyokka mulimu ebintu bingi ebirungi n'ebibi ebyetaaga okujjukirwa.
Yasabye Abaganda obutatabiikiriza bya Buganda na byabufuzi kuba bibaggya ku mulamwa gw'okukuuma Ekitiibwa kya Buganda.
Omu ku bakulira ebika by'Abaganda abali mu Ankole, Haji Issa Katongole yasabye Nabagereka abaleetere ekisaakaate mu Ankole.
0 comments:
Post a Comment