UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] ABALINA AMAGEZI BAGAKOZESA....!


Mega Nabakooza Katonda
KATONDA AFIRIKA,
OMUKYALA OMUTUKUVU DDALA
    LONDON.
    June 2013
 
 
ABALINA AMAGEZI BAGAKOZESA....!
 
 
Abalina amagezi bagakozesa, abasiru nebakola lugezigezi!
Laba bano bo bafaabiina kukola, bali bo bafa kugaya, oh!
Omugezi azza nvuma, omusiru avuma buvumi.
Abagezi balongoosa, abasiru nebonoona.
 
Bakozesa magezi okuyiiya, nebasaba Katonda abayambe.
Abasiru nebalaba abayiiya bwebategeka byebakola,
Ate bo nebatega sitaani nabujja! O, Baswadde!
Bano basala magezi, bali bo basala busazi.
 
 
Okeera kunkya newebaza Katonda olunaku olupya.
Nowaayo omwoyo gwo gyaali omuwereze.
Yye naakuwa amaanyi n'obumalirivu.
Okozesa magezi okumuddiza ebiyonjo n'ebirungi.
 
 
Bo basula mu bugwaagwa mbu batta maka!
Basula bubi ng'ennugu yebaluma gy'obeera lumbe.
Bwebukya nebageya,  mbu bagaya olwo bavuma
 Ku bifugi kwebasiiba nga basonga nnwe mu bakozi n'abayise!
  
 
 Bali bamanyi kyebakola, bano bamanyiira.
Bali basoma era basomesa, bano basemba ne ku mmeeme!
Bali bakanika, batereeza, bazimba.
Bbo bano basinika, bateerera, balimba.
 
 
Abalina amagezi bo bagakozesa!  Naalima n'afumba. 
Abasiru bakola lugezigezi.  Nti ate mulabe bwalima!
Mbu tebafumba batyo era tebafumb' eyo.
Oli nalima, nayunja, nafumba. 
 Bwaaba ajjula ate nebasonga! Oh!
 
   
Mega Nabakooza Katonda
KATONDA AFIRIKA,
OMUKYALA OMUTUKUVU DDALA
    LONDON.
 June 2013



















Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers