UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] ANi asobola kino????

Eyawerekedde bba ng'agenda okwanjulwa muggyawe avuddeyo ennyindo y'enkata
Kampala | Jun 23, 2013
Mukyala mutong'aliisa bba Mpiimakeeki ku mbaga.


 

 

 

 

Bya ALI KIZZA

OMUKWANO ogw'ababiri bwe guyingiramu owookusatu ku bombi tewabula atuyira (anyiiga). Oba owakana tunuulira Ibra Mpiima ne bakyala be ababiri.

Mukyalamukulu yayagadde alage obuntubulamu obw'ekitalo nga muggyawe ayanjula bbaabwe, mukaziwattu n'ayambala n'awerekera bbaabwe gye yabadde agenze okumwanjula.

Kyokka ebyabadde ku mukolo byamusiikudde emmeeme omukolo ogwabadde ogw'essanyu
ye ne gumubijjirira ekyawalirizza bbaabwe okuggyayo obukodyo bwonna obufuga laavu ey'okugabana okukkakkana ng'awangudde.

Mukyala mukulu Nakibuuka ng'aliisa bba Mpiima mu kwanjula ewa mukyala muto.

Ibra Mpiima yayanjuddwa mukyalamuto Rahma Nambassa bwe baakamala emyaka mwenda mu bufumbo.

Abaawerekedde ku Ibra beekanze nnyo bwe baalabye mukyala mukulu Hadija Nakibuuka amaze mu ddya emyaka 12 nga naye anekedde mu gomesi awerekera bbaabwe gye baabadde bagenda okumwanjula.

Baamwekanze atuuse mu kifo we baabadde bagenda okusimbula mu Kigagga e Nateete.

Okwanjula kwabadde Buloba mu disitulikiti y'e Wakiso era Nakibuuka mu kidaala yatudde kumpi ne bbaabwe emabega nga ssenga tannamuzuula.

Enteekateeka y'omukolo yabadde nti okwanjula n'embaga bigendera wamu era omukolo gw'okwanjula olwawedde abagole ne bambala kadaali okugenda ku mbaga eyabadde e Nateete mu Kigagga.

Ebisesa byatandise abagole beeriisa keeki anti Ibra olwamaze okuliisiganya n'omugole kwe kukwata essowaani n'agenda mukyalamukulu we yabadde atudde era n'akola ekitatera kukolebwa basajja bwe yafukamidde wansi n'atoola keeki n'aliisa nnaalongowe ne mukyalamukulu naye n'aliisa bbaabwe mu ssanyu eppitirivu.

Olwamaze keeki Ibra kwe kukwata akazindaalo ne yeebaza mukyalamukulu Nakibuuka okusobozesa omukolo okubeerawo era n'amusaba aveeyo abeeko by'ayogera.

Wano essanyu lya Nakibuuka we lyakomye n'alyoka anyiiga nnyo abantu ne batandika
okumuleekaanira wabula yalemedde mu ntebe wadde waafubutuseeyo omukazi eyazze n'afukamira w'ali era n'amwegayirira abikkeko asituke agende abeeko ky'ayogera.

Ibra yalabye mukyalamukulu avudde mu mbeera kwe kumuwa ennaku z'omwezi 25 olwo n'amulagira yeerondere omwezi gwonna gw'ayagala okwanjula n'okumusiba kadaali omwaka ogujja.

Wano abaabadde ku mbaga we baategeeredde nti ye mukyalamukulu baabadde tebamusibanga kadaali wadde okumwanjula.  Mukyalamukulu yagaanyi okwogera.

Abakyala abaabadde ku mbaga buli omu yavuddeyo yeewuunya Nakibuuka okusiba omutima n'awerekera bbaabwe.

Abamu obwedda balayira nga bwe batasobola bo kuwerekera babbaabwe ne batuuka n'okwebuuza Ibra akadagala gye yakaggya ke yawa Nakibuuka.

Omugole by'agamba

Nasanyuse nnyo muggya wange okubeerawo ku mukolo gwange era saakyewuunyizza kubanga bulijjo tubadde n'enkolagana ennungi.

Omwami yanzimbira amaka agange e Bbira era nnina n'ennyumba z'abapangisa mwenda nga nze nzisolooza ne ssente bbaffe tambuuza bwe nzikozesa kale siraba nsonga lwaki mba nningiriza muggya wange nga buli kye njagala nkifuna.

Omukolo ogwange guwedde era ne munnange baamuwadde yeerondere omwezi gw'ayagala okwanjuliramu era nange olulwe bwe lunaatuuka nja kubeerayo.

Mukyalamukulu annyonnyola:
Nga wayise ennaku ng'embaga ewedde, omusasi yasisinkanye abafumbo bano boogere ku byabaddewo ku mbaga:

Mukyalamukulu Nakibuuka yagambye nti: Muggya wange simulinaako buzibu era bbaffe mmusanyukira kubanga ayawukana ku basajja abalala olw'engeri gy'atuyisaamu eyatuwa enkolagana ennungi gye nnina ne muggya wange era mmulaba nga muto wange.

Bbaffe yanzimbira amaka gange mu Kikajjo mu ggombolola y'e Nsangi n'agattako ennyumba z'abapangisa mwenda era n'azinkwasa nze nzisoloozaamu ssente era nze mmanya bwe nzikozesa.

Tukolagana bulungi ne muggya wange era okutuuka okukola okwanjula n'embaga ye twakiteesaako n'omwami.

Amaka ga Hadija Nakibuuka mukyala mukulu agasangibwa mu Kikajjo.

Kyajja kiti: Omwami bwe yamala okunzimbira yakola omukolo omunene ogw'okuyingira enju ne muggya wange yajja n'abeerawo.

Bwe baamala naye okumuzimbira ye yagaana okumukolera omukolo gw'okuyingira enju n'asaba omwami agendeko ewaabwe.

Ewaffe yakyala dda wadde sinnaba kumwanjula. Engeri gye yali tannakyala wa muggya wange nakikkiriza wabula ne basalawo butakyala banjule lumu n'embaga ekyo kiggwe nange nninde lwange.

Bbaabwe Mpiima by'agamba:
Bakyala bange ebbanga lye mmaze nabo tebayombangako era kino nkikola nga mbawa kyenkanyi era buli omu amanyi munne ky'alina.

Okwanjula omuto twamaze kukiteesaako ffenna basatu ne tukikkaanyako ng'ate okusinziira ku bye mbakoledde bombi baabadde balina kukkiriziganya.

Nakibuuka teyeetabye ku mukolo gwokka wabula enkiiko zonna ez'okuteekateeka omukolo gwa munne yazirimu n'awa n'amagezi.

Akakwakkulizo ke yateekawo okubeerawo ku mukolo lwali lugoye era yansaba mmuwe ssente agule olugoye olutaamuswaze ne nkikola.

Obuzibu bakyala bange bombi tebaagala nfune mukyala waakusatu era buli lwe ngezaako okukikola beegatta ne balumba omukyala gwe baba bategedde nti gwe mbagasseeko.

Mukyalamukulu Nakibuuka ng'avudde mu mbeera.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers