[UAH] Ekibuga kitabuse; Abasuubuzi bagaanyi emisolo emipya
Bya MARGARET ZIRIBAGGWA, MOSES LEMISA, ALI KIZZA NE GODFREY LUKANGA
EMBEERA y'abasuubuzi mu Kampala etabuse ng'eva ku misolo emipya egyassiddwaawo n'okuwamba ebyamaguzi by'abantu ne babafiiriza ng'ate ssente ze bakozesa nneewole ziri mu mabanja.
Aba KACITA bawakanya omusolo ogubagaana okusuubula ebweru, ab'e Kawempe babadde bakuba omubaka wa Pulezidenti mu Kampala n'abakungu ba KCCA olw'okubatulugunya n'okuwamba ebyamaguzi byabwe ate e Nateete baabadde balwana lw'abantu abayita mu SACCO okubanyaga.
ABASUUBUZI B'E KAWEMPE
Aba KCCA ne RCC wa Kampala, Samuel Mpimbaza Hashaka bawonedde watono okukubwa ab'e Kawempe nga babalanga okubatulugunya n'okuwamba ebyamaguzi byabwe ate nga balina okusasula amabanja ga bbanka.
Baabadde ku kimeeza mu luggya lw'akatale e Bwaise aba KCCA ne RDC gye baabadde bagenze okuwulira ebirowoozo by'abatuuze n'okubategeeza enteekateeka za gavumenti eri abasuubuzi abakolera mu katale kano.
Embeera yayonoonese kansala wa Bwaise 2, Ismail Nsimbe eyabadde akubiriza olukiiko bwe yalombozze engeri abasuubuzi gye batuntuzibwa abakozi ba KCCA, n'asaba ebikwekweto biyimirizibwe okutuusa ng'abasuubuzi bafuniddwa ebifo gye bagenda okubeera.
Omumyuka wa meeya w'e Kawempe Ibrahim Kamihanda Mirembe yasabye Town Clerk, akome ku baserikale be balekere awo okubowa ebyamaguzi by'abasuubuzi kubanga okubagobaganya kikyayinza okwongera obumenyi bw'amateeka.
Abasuubuzi okuli n'abavuzi ba bodaboda baakalambidde nga bagaana KCCA , okutuuza olukiiko ne batuula mu ntebe ezaabadde zitegekeddwa abakungu.
Kansala omukazi akiikirira omuluka gwa Bwaise 3 ku munisipaali y'e Kawempe, Scott Kiwanuka yawonedde watono okugajambulwa abatuuze nga poliisi n'amagye bye byayitiddwa okumutaasa.
Mpimbaza Hashaka abasuubuzi baasoose kumulemesa kwogera, kyokka oluvannyuma ne bamuloopera nti ng'oggyeeko abakozi ba KCCA okubatulugunya, nti n'ebikwekweto bya poliisi bibafuukidde ekizibu kubanga bikolebwa abantu abambadde engoye eza bulijjo nga kibeera kizibu okubaawula ku babbi kubanga bababbako ebintu bye babeera batambudde nabyo.
"Ebikwekweto ebikolebwa abaserikale ba poliisi abatali mu yunifoomu mbiyimirizza mbagirawo. Omuserikale yenna anaasangibwa ng'akwata abantu ekiro nga tayambadde yunifoomu waakukangavvulwa," Mpimbaza bwe yategeezezza.
KACITA BAGAANYI OMUSOLO:
MINISITA w'amakolero n'obusuubuzi, Amelia Kyambadde asabye abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya KACITA, okugenda mu maaso n'okusasula emisolo egibalagirwa, era bwe wabaawo kye batakkaanya nakyo bayite mu kuteesa so si kwekalakaasa.
"Twasisinkanye n'abakulembeze ba KACITA ne tubategeeza nga en¬songa ezibagulumbya omutwe nga zikwata ku musolo oguggyibwa ku byamaguzi nga bikyali mu mawanga gye babisuubula bwe gugenda okutunulwamu, kyokka nga balina okubeera abagumiikiriza kubanga okuteesa ly'ekkubo erisinga okubeera eddungi," Minisita bwe yategeezezza ku ssimu.
Minisita Kyambadde yagambye nti ensinsikano ya KACITA gye baabaddemu yeetabiddwaamu n'omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura era n'abannyonnyola akabi akali mu kwekalaakasa.
SEKITTO AYOGEDDE
Aba KACITA bagamba nti omusolo ogubaggyibwako ekitongole kya PIVOC, ekyassibwawo minisitule y'ebyobusuubuzi ng'eyita mu kibiina kya Uganda National Bureau Of Standards (UNBS), gubanyigiriza era gubaleetedde okulowooza nti gavumenti eyagala kubalemesa kusuubula bweru.
Omwogezi wa KACITA Issa Ssekitto agamba nti aba UNBS, bassaawo enkola ey'okukebera ebintu byonna aba-suubuzi bye basuubula okuva ebweru w'eggwanga n'ekigendererwa ky'okulaba ng'omutindo gw'ebyamaguzi mulungi.
Kyokka beewuunya okulaba ng'abantu abakebera ebintu essira basinga kulissa ku kusaba abasuubuzi lisiiti kwe baagulidde ebintu olwo ne bakuggyako omusolo okusinziira ku bbeeyi kw'ogulide ebyamaguzi.
Bw'oba wabiguze bbeeyi nnene bakuggyako omusolo munene ate bw'oba waleese bya bbeeyi ntono bakuggyako ssente ntono.
"Ekigendererwa kya kutuggyako musolo oba kukebera mutindo? Kubanga bwe kubeera kulinnyisa mutindo ng'agula ebintu ebya layisi gwe baggyako ssente entono sirowooza nti balina kye babeera bayambye wabula okusindika abantu okwongera okugula ebintu ebya layisi oluusi ebitaba bya mutindo okusobola okukendeeza omusolo gwe basasula", bwe yategeezezza.
N'agamba nti omusolo guno baatandika okugusasula nga June 1, omwaka guno era baasisink¬anye ne minisita kyokka talina kye yakyusizzaamu nga kati balina entegeka ng'abasuubuzi okulaga abakulembeze obutali bumativu bwe balina.
Sekitto yagambye nti newankubadde omusolo guno batandise okugubaggyako kyokka gyonna emisolo egyabalagirwa bakyagisasula, nga mulimu VAT, omusolo oguggyibwa ku bintu ebiy¬ingira (Import Tax), omusolo oguggyibwa ku nnyingiza yo (Income Tax) wamu ne Excise duty.
0 comments:
Post a Comment