[UAH] Kayihura Asaba Abantu Bamuyambeko Azimbire Police Amayumba ! hey !
Bya WALIGO SADATI
Omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura asabye Bannayuganda bonna okumukwasizzaako okuzimba poliisi mu bitundu ebyenjawulo kubanga poliisi terina ssente zimala okuzizimba okubuna wonna.
Yasinzidde ku kyalo Kalegero mu ggombolola y'e Kisekka mu Lwengo mu kuggulawo poliisi eyazimbiddwa ssentebe w'eggombolola y'e Nsangi, Al -Abudu kiyimba.
Poliisi eno yaweereddwaayo oluvannyuma lw'obumenyi bw'amateeka omuli obubbi bw'emmwaanyi n'ebirime okweyongera ekikosezza embeera z'abantu.
Poliisi yasuuumusiddwa okuva ku positi n'efuulibwa eyeetongodde era Kayihura n'asuubiza n'okugiwa embwa, emmotoka ennawunyi n'okubongera abaserikale bawere 30 okukola ku bumenyi bw'amateeka obweyongera buli lukya mu kitundu.
Ku ttemu erisusse mu ggwanga, kayihura yakitadde ku banywi ba njaga bagamba nti bapangisibwa ne beetaba mu bikolobero ebyo.
Ssentebe wa disitulikiti y'e Lwengo, George Mutabazi yasiimye Kayihura olw'okukuza abaana abato n'ava ku bakadde bagamba nti bali boonoonye poliisi.
Kiyimba yagambye nti Poliisi yagizimbye kuyambako kukendeeza ku bumenyi bw'amateeka mu kitundu era yeeyamye n'okuzimba ey'e Kingo n'e Kinoni.
Aduumira poliisi y'e Lwengo, Paul Wataka yategeezezza mukama we nga bwe balina abaserikale 143 bokka mu disitulikiti yonna, positi ssatu kati ne sitensoni enzijuvu 4 ng'ogasseeko n'empya.
0 comments:
Post a Comment