UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


[UAH] seveni asuuzizza mutowe enju



Hannah I can see u were part of the deal- Toyota must be in Jail.

Gutoyata guubi

Museveni asuuzizza mutowe enju ya nnamwandu: 'Giveemu mangu'
Jun 02, 2013
Enju Museveni mwe yagobye Toyota. Mu katono ye Michael Toyota muto wa Museveni


Bya Samuel Balagadde                                                          
PULEZIDENTI Museveni  alagidde muto we amannyiddwa nga Toyota ave mangu mu nnyumba ya nnamwandu gye yabadde amuggyeeko mu lugezigezi.
Kino kiddiridde nnamwandu Margaret Atweta okwekubira enduulu ewa pulezidenti Museveni ng'ayita mu minisita Aidah Nantaba, n'aloopa Toyota nga bwe yakozesa olukujjukujju n'amunyagako ennyumba ye e Bukoto mu Kampala.
Nnamwandu w'omujaasi Sgt Fred Atweta (eyafa mu December wa 1994 n'amulekera abaana basatu nga kati omukulu amazeeko yunivaasite) annyonnyola nti yapangisa Toyota ennyumba eno mu 2005 ku 1,000,000/- buli mwezi kyokka ekiseera kyatuuka nga Toyota takyasasula okumala ebbanga lya myaka ena. Agattako nti Toyota oluvannyuma yamumatiza n'amutwala ew'omuyaye w'omu kibuga Hannah Ogupiti ne yeewola obukadde 20 nga yalina kuzzaayo 30 asobole okulabirira abaana n'okuddaabiriza enju.
Nnamwandu agamba nti oluvannyuma yafuna ssente za Ogupiti n'amunoonya okumusasula kyokka n'abulawo mu bugenderevu, kye yava azitwala mu kkooti  era ekyaddirira Toyota kwegatta ne Ogupiti ne bamuggyako enju ye.
Atweta agamba nti Toyota ng'ali wamu ne Ogupiti baagezaako okumumatiza bamuwe obukadde obulala 100 enju agibaguze kyokka n'agaana ng'agamba nti enju ya baana ate nga ssezaala we ye yalekerwa obuvunaanyizibwa bwonna ku nnyumba eno n'olwekyo tayinza kugitunda.
Oluvannyuma Ogupiti, nga yeeyambisa endagaano kwe yawolera nnamwandu ssente, yakyusa amannya g'enju eno okuva mu ga nnamwandu n'agizza mu gage oluvannyuma n'agissa mu mannya amalala n'atandika n'okugikyusa yonna ng'okugiggyako akasolya n'ebirala.
Minisita Nantaba yatwala nnamwandu Atweta ewa Pulezidenti Museveni eyawuliriza ensonga n'alagira nnamwandu addizibwe enju ye era n'alagira ne muto we Toyota okusasula ensimbi z'obupangisa ez'emyaka ena ezimubanjibwa.
Omubaka wa gavumenti mu Kampala, Samuel Mpimbaza Hashaka yategeezezza nti ensonga zino azimanyiiko era yalagidde akulira poliisi y'e Kira Road asse abasirikale ku nju eno bagikuume okutuusa nga buli kimu ekigikwatako kimaze okugonjoolwa.
Yannyonnyodde nti baakizudde nti nnamwandu yakozesebwa endagaano nga yeewola ensimbi eraga nti yatunda enju eno nti kyokka abaakikola baali bakyamu kubanga ensimbi ze baamuwa tezigya mu nju eyogerwako.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers