[UAH] Sisobola Kuwagira Luganda - Museveni - YAAAAAAAAWN
Sisobola kuwagira Luganda - Museveni
- News Home /
- Sisobola kuwagira Luganda - Museveni
Thursday 6th June, 2013 on Bukedde
Museveni bino yabyogedde ggulo mu Palamenti y'Obuvanjuba bwa Afirika ekutte wiiki eyokubiri ng'etuula mu Kampala era nga yabadde ayanukula omubaka okuva e Rwanda, Christopher Gazivangu, eyamusabye akozese ekifo kye nga ssentebe w'omukago afube nga bw'asobola amatize bakulu banne batondewo ekitongole eky'okutumbula Oluswayiri mu muwanga gonna gannamukago. Wabula waabaddewo okwekanga emu ku mmotoka ezikuuma pulezidenti bwe yakubye 'omwasi' abantu abamu ne balowooza nti lyabadde ssasi.
Pulezidenti n'abakuumi be tebaalaze kutya kwonna oluvannyuma ne beggyawo.... Read the comprehensive news article and discuss at Bukedde (below)
Sisobola kuwagira Luganda - Museveni
Jun 06, 2013
Sipiika wa Palamenti y'omukago gw'obuvanjuba bwa Afrika, Margaret Zziwa (ku ddyo) ng'alina by'annyonnyola Pulezidenti Museveni n'ababaka.
Bya AHMED KATEREGGA
Pulezidenti Yoweri Museveni agambye nti tasobola kufuula Luganda lulimi lwa ggwanga kubanga ab'amawanga amalala bayinza okumulyamu amaaso.
Yeeyamye kutumbula Luswayiri kubanga teruliiko ggwanga lyonna lirwesibako.
"Singa kantanda ne nfuula Oluganda olulimi lw'eggwanga, Abanyankole, Abacholi n'abaamawanga amalala basobola okundyamu amaaso nga bambuuza akana n'akataano lwaki ntiitiibya Oluganda okukira ennimi endala," Museveni bwe yategeezezza.
Yagambye nti wabula Oluswayiri lwavu lwa bigambo n'anokolayo ekigambo "State House" nti lwali terukirina okutuusa omugenzi Mwalimu Julius Nyerere lwe yalukyewolera mu Lunyamwezi mu masekkati ga Tanzania n'eyitibwa "Ikulu."
Afrika agenda kufuba nga bw'esobola, batondewo akakiiko ak'okukulaakulanya Oluswayiri mu mawanga gannamukago nga kasasulirwa eggwanika ly'omukago lyennyini mu kifo ky'okukozesa ak'e Tanzania kokka, nga bwe yabadde amaze okusaba mukulu munne, Pulezidenti Jakaya Kikwete.
Museveni bino yabyogedde ggulo mu Palamenti y'Obuvanjuba bwa Afirika ekutte wiiki eyokubiri ng'etuula mu Kampala era nga yabadde ayanukula omubaka okuva e Rwanda, Christopher Gazivangu, eyamusabye akozese ekifo kye nga ssentebe w'omukago afube nga bw'asobola amatize bakulu banne batondewo ekitongole eky'okutumbula Oluswayiri mu muwanga gonna gannamukago.
Olungereza lwe lulimi olutongole mu ndagaano y'omukago guno, Okusooka, mu kwogera okwabaddemu
okutabiikirizaamu Oluswayiri, Mw. Museveni yabadde asoomozza ababaka ba Palamenti y'obuvanjuba bwa Afrika okuba abasaale mu kugenda mu byalo basomese abantu obulungi bw'omukago era n'asuubiza nti amawanga gannamukago
gamaliridde okuddaabiriza n'okugaziya enguudo z'eggaali y'omukka eziriwo n'okwongerako endala, okuva e Mombasa okutuuka e Kasese n'e Pakwach, okuva e Kasese okutuuka e Kisangani n'okuva e Gulu okutuuka e Juba, awamu n'okwongerako oluyita e Rwanda, Burundi n'e Tanzania.
okutabiikirizaamu Oluswayiri, Mw. Museveni yabadde asoomozza ababaka ba Palamenti y'obuvanjuba bwa Afrika okuba abasaale mu kugenda mu byalo basomese abantu obulungi bw'omukago era n'asuubiza nti amawanga gannamukago
gamaliridde okuddaabiriza n'okugaziya enguudo z'eggaali y'omukka eziriwo n'okwongerako endala, okuva e Mombasa okutuuka e Kasese n'e Pakwach, okuva e Kasese okutuuka e Kisangani n'okuva e Gulu okutuuka e Juba, awamu n'okwongerako oluyita e Rwanda, Burundi n'e Tanzania.
Wabula waabaddewo okwekanga emu ku mmotoka ezikuuma pulezidenti bwe yakubye 'omwasi' abantu abamu ne balowooza nti lyabadde ssasi. Pulezidenti n'abakuumi be tebaalaze kutya kwonna oluvannyuma ne beggyawo.
__,_._,___
0 comments:
Post a Comment