[UAH] Ssemaka ow'abaana 17 akonkomalidde ku CPS:"Museveni mpa ekyokulya"
Bya Eria Luyimbazi
OMUSAJJA asitudde ab'omumakage bonna okuva e Rukungiri n'abaleeta mu Kampala ng'agamba nti ayagala kugenda mu State House kulaba Pulezidenti amutaase ku mugagga amugobaganya ku ttaka kwabeera.
Haruna Kanyike 51 omutuuze ku kyaalo Kabale e Rukungiri yeyasitudde ab'omu makaage okuli abakyala basatu Sarah Nampumuza , Asiyati Kobugyendo ne Aisa Tushamarirwe n'abaana 17 okubaleeta e Kampala ng'ayagala kulaba pulezidenti ne Minisita w'eby'ettaka Ida Nantaba bamutaase ku mugagga ayagala okumugoba ku ttaka kwabeera n'okulimira.
Haruna Kanyike
"Nina obuzibu nti waliwo omugagga agobaganya ku ttaka nga kati yasibye olukomera okwetolooza oluzzi kwetukima amazzi omusajja oyo ambonyabonyezza kinene n'abaana bange nebalemwa okubeera mu ssomero era nsaba buyaambi" Kanyike bwe yagambye.
Kanyike omulema yagambye okujja mu Kampala yatuukidde ku Palamenti nabasaba okumulagirira ofiisi ezisobola okumuyamba mu kumulwanirira obutagobwa ku ttaka kyokka nebabako gyebamusindika ye kwekusalawo agende mu maka ga Pulezidenti wabula abakuumi nebamutegeeza nga abakulu beyabadde ayagala okulaba tebaliiwo.
Kanyike yagambye nti poliisi yamusanze ava kwogera n'abasirikale abakuuma mu maka ga Pulezidenti e Nakasero nemukwata n'abantu be nebatwala ku CPS nga tebamunyonyodde nsonga yonna.
Yagaseeko nti yali yesitulako nagenda mu maka ga pulezidenti e Rwakitura namutegeza obuzibu bwalina ku ttaka kwabeera era namukwasa omwani Karuhanga aabakola mu ofiisi ye okukola ku nsongaze naye tayambiddwa nga kyekimuviriddeko okwesitula okuva e Rukungiri okujja addemu amusisinkane nyambibwe.
Ye akulira poliisi ya CPS Moses Nanoka yagambye okukwata Kanyike n'ab'omumakage baamaze kubalaba nga batayayiza ku nguudo era nga baabasanze ku kizimbe kya Rwenzori Courts webabaggye okubatwala ku CPS webakumirwa mu kiseera kino.
Famire ya Kanyike ng'egabana emigaati ku CPS.
Ebifaananyi byonna bya Eria Luyimbaazi.
0 comments:
Post a Comment