[UAH] Kkooti eyimbudde Besigye Lukwago ne banna 4GC, poliisi neddamu nebakwata
seriously, look at the goons,what are they doing when ugandans are being murdered else where?Kkooti eyimbudde Besigye Lukwago ne banna 4GC, poliisi neddamu nebakwata |
KABAALE Poliisi ekutte bannakibiina kya 4GC okuli Loodi Ingrid Tulinaawe, Mubaraka Munyagwa n'abalala wadde nga wakayita eddakiika mbale nga kkooti emaze okubakiriza benyimirirwe ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 buli muntu. Okusinziira ku Ingrid Tulinaawe bano babadde bava Kabaale nga bayingidde tawuni ye Ntungamo, abakwate batereddwa mu mmotoka ya poliisi wabula wetwagendedde mu kyapa nga tewali amanyi gyebatwaliddwa. Kkooti ento e Kabale ebadde ekiriza bano abavunanibwa omusango gwokukuba olukungaana olumenya amatteeka mu mwaka oguwedde nga kigambibwa nti muno mwebasinziira okukuma mu bantu omuliro. Abatuuze be Kabaale babadde besonzemu ensimbi ezisoba mu kakadde okusobola okweyimirira nga abamu ku bano poliisi okuva ku makya egezaako okubagumbulula nga ebakubamu tiyagaasi Kino kiddiridde kkooti e Kabale okuyisa ebibaluwa bibakuntumye ku bannakibiina kya 4GC nga eno gyebabadde bagenze okusomerwa emisango. Okusinziira ku Ingrid Tulinawe ASuman Basalilwa munamateeka waba 4GC ywe yasoose okukwatibwa nga agenda e kabale okubawolerza nagalirwa ku poliisi ye Nsangi wabula oluvanyuma nayimbulwa nga taguddwako musango gwonna. Omwogezi wa poliisi teyasiobodde kufunika kubaako kyatangaza olwobutakwata masimu ge so nga neyomuyambi we teyabaddeko. GODFREY KIRUMIRA NE FRANCIS NDUGWA |
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans and Africans in general. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment