{UAH} Endagaano Ya Kabaka Ne Musevei Eyombezza Ababaka
2013/8/26 Patrick Bugembe <patbugembe@yahoo.co.uk>
*** GandaTalk - For A More Balanced Ganda View ***
Omubaka w'ekibuga Mukono Betty Nambooze, akola nga omumyuka wa ssentebe w'ababaka ba Buganda ayambalaganye bukanzu ne mukama we ssentebe w'ababaka bano Godfrey Kiwanda ng'entabwe eva ku ndagaano Kabaka gye yakoze ne Pulezidenti Museveni ey'okuzza ebintu bya Buganda.
Kino kidiridde Kiwanda okuyita bannamawulire ne yebaza Pulezidenti Museveni olw'okukola endagaano ne Kabaka emuddiza ebintu.Era Kiwanda ne yetonda olw'abantu abang'oola Pulezidenti Museveni bwe yali agenze mu Lubiri ku mikolo gy'okukuba amatikira ga Kabaka ag'emyaka 20.
Kyokka Nambooze bino olumugudde mu matu n'alumba Kiwanda ng'agamba nti yawadde obuyinza okwogera ku nsonga enkulu ku lw'ababaka ba Buganda nga tasoose kubeebuzaako. ''Bwe twagenda ewa Katikkiro (Charles Peter Mayiga) yakitutegeeza kaati nti tagenda kutuwa ndagaano olw'okutya abantu okugitaputa ekifulannenge.
Nayongera nti talina na buyinza kwetondera Museveni olw'efujjo eryamukolebwako mu Lubiri kuba ssi yali omutegesi w'emikolo naye yayitibwayo buyitibwa. '' Abantu ba ddembe okung'ola Pulezidenti kuba kiraga nti demokulase akuze. Kiwanda yetonda ku lw'ani?'' bwe yabuuzizza.
---
August 26
Endagaano ya Kabaka ne Museveni eyombezza ababaka - Omwami Kiwanda ne Mukyala Nambooze
Bya Muwanga Kakooza
Omubaka w'ekibuga Mukono Betty Nambooze, akola nga omumyuka wa ssentebe w'ababaka ba Buganda ayambalaganye bukanzu ne mukama we ssentebe w'ababaka bano Godfrey Kiwanda ng'entabwe eva ku ndagaano Kabaka gye yakoze ne Pulezidenti Museveni ey'okuzza ebintu bya Buganda.
Kino kidiridde Kiwanda okuyita bannamawulire ne yebaza Pulezidenti Museveni olw'okukola endagaano ne Kabaka emuddiza ebintu.Era Kiwanda ne yetonda olw'abantu abang'oola Pulezidenti Museveni bwe yali agenze mu Lubiri ku mikolo gy'okukuba amatikira ga Kabaka ag'emyaka 20.
Kyokka Nambooze bino olumugudde mu matu n'alumba Kiwanda ng'agamba nti yawadde obuyinza okwogera ku nsonga enkulu ku lw'ababaka ba Buganda nga tasoose kubeebuzaako. ''Bwe twagenda ewa Katikkiro (Charles Peter Mayiga) yakitutegeeza kaati nti tagenda kutuwa ndagaano olw'okutya abantu okugitaputa ekifulannenge.
Era ffe ng'ababaka ba Buganda tetunafunako kopi okuggyako okusoma ku bupapajjo bwayo bwe tusanga mu mawulire. Olwo Kiwanda by'ayogera abiggya wa era abyogera ku lwani ?'' Nambooze bwe yagambye bannamawulire.
Nayongera nti talina na buyinza kwetondera Museveni olw'efujjo eryamukolebwako mu Lubiri kuba ssi yali omutegesi w'emikolo naye yayitibwayo buyitibwa. '' Abantu ba ddembe okung'ola Pulezidenti kuba kiraga nti demokulase akuze. Kiwanda yetonda ku lw'ani?'' bwe yabuuzizza.
Mu kusooka Kiwanda agambye nti ababaka ba Buganda bagenda kuleeta ekiteeso ekisiima Pulezidenti Museveni olw'okuddiza Kabaka ebibye n'okukola naye endagaano ekigenda okwongera okutebenkeza Buganda. Ayongedde nti endagaano okukiriza Kabaka okwetaaya mu masaza ga Buganda gonna nakyo kigenda kwongera okuleeta emirembe n'agamba nti ensonga z'Abanyara n'Abaluuli zigenda kwongera okugonjoolwa mu kuteesa.
Kyokka Nambooze agambye nti Kiwanda okuwaga Abanyara n'Abaluuli okukajjala ku Kabaka aba ng'alidde olukwe mu Kabaka we era biba biseera bya dda yandibadde atwalibwa mu ttambiro e Namugongo n'attibwa.
0 comments:
Post a Comment