{UAH} FW: Buganda chairperson 12
From: Ahmed Kateregga [mailto:akateregga@newvision.co.ug]
Sent: Thursday, March 12, 2009 3:22 PM
To: 'mssebowa@newvision.co.ug'; 'pkaddu@newvision.co.ug'; 'JWalugembe@newvision.co.ug'; 'nmbaziira@newvision.co.ug'; 'rkalyowa@newvision.co.ug'; 'rmasengere@newvision.co.ug'
Cc: 'Geofrey Kulubya'
Subject: Buganda chairperson 12
Buganda chairperson 12
Ahmed Kateregga
AKULIRA AKABONDO k’ababaka ba Buganda mu Paalamenti Muky. Rose Namayanja Nsereko asanyukidde nnyo ekya Bungereza okufuniras Uganda ensimbi ezinaasobozesa ab’ebibanja okwegula n’agamba nti kinaamalalawo enkaayana z’ettaka.
Ng’ayogeramu ne BUKEDDE eggulo, Muky.Namayanja yagambye nti ensawo y’eby’ettaka eri mu Ssemateeka wa 1995 ne mu teeka ly’ettaka erya 1998 nga mu yo ow’ekibanja asobola okwegula ku nannyini taka, oba ow’ettaka okugula ab’ebibanja n’abamala mu taka lye.
“Ffe kyetufa ly’ettaka okubeerako nannyini omu mu kifo ky’embeera eriwo kati mu Buganda ng’w\ettaka alinako obwanannyini ate n’w’ekibanja naye alinako obw’obusenze,” bwatyo Namayanja bwe yagambye kyokka n’alabula nti ensimbi ziteekeddwa okutuusibwa ku muntu asembayo mu kyalo, so ssi ate kulifuula kubo lya kugaggawaza balala nga beefudde bannyini taka ne bannannyini bibanja naye nga si batuufu.
Kino kiddiridde Katikkiro wa Bungereza Mw. Gordon Brown, okusisinkana Pulezidenti Museveni e London, n’asuubiza okudduukirira n’ejjamba mu nsawo y’ettaka nga bwe gwali e Kenya n’e Zimbabwe ettaka gye lyagulwa ku Baceeruppe ne liddizibwa Abaddugavu bannannyini nsi.
Ends….
0 comments:
Post a Comment