{UAH} bananyini ttaka
Bwotunulira video eno https://www.youtube.com/watch?v=17QxF61PVC4 elaga nti waliwo bananyini ttaka abasobola okutunda ettaka elyo. Bwoba olina omutima ogulumirwa abaana bo ne bazukulubo otandika okutegera nti obudde butuse abaganda okuddayo emabega ettaka lyaffe gyelyali ligabanyiziddwa mu bbika byaffe nga ababbi abangereza naba mission bamaddini eyaba kristayo naba katoriki nga begase ne banakigwanyizi ba Apollo Kagwa mu 1900 tebana tubuzabuza kutubba ko ttaka lyaffe. Ettaka lya Buganda eliweza square mile 19,600 lya Bbika bya baganda 52 a) telitundibwa b) telyazikibwa, wabula lisikirwa abaana nabazukulu nebalibera ko nabo nebalilekera abaana nabazukulu babwe eyo yenkola eyazimbibwako Buganda era eno yenkola gyetusanye okugoberera. Abaana na bazukulu babuganda kati kyetusigaza okola kwekwekemba netugoba baserwajja okwota kuttaka lyaffe elyo butonde tulina nokusigukulura banakigwanyizi abaganda emisege egye kweka mu byoya byendiga. Banange bwetune sulilayo ogwa nagamba ngatulowoza nti ebyo ebituse ku muno gwe tebikutukeko tujja kwesanga nga ffena tuli mulyato lyelimu tubbira enyanja etumira.
Kasozi Mukasa Nalwasabitokote
UK
0 comments:
Post a Comment