{UAH} FW: [UNAANET] Okwogera kwa Muteesa II ku meefuga mu 1962
To: unaanet@yahoogroups.com
From: sbh_diana@hotmail.com
Date: Thu, 10 Oct 2013 18:08:38 +0200
Subject: [UNAANET] Okwogera kwa Muteesa II ku meefuga mu 1962
http://www.bukedde.co.ug/news/74496-okwogera-kwa-muteesa-ii-ku-meefuga-mu-1962.html

KIJJA kugenda mu byafaayo, nti lwali 09/ 10/1884, SSekabaka Walugembe Muteesa I, omubanzi w'ensi eno kati Uganda, lwe yakisa omukono. Era yagalamizibwa mu Lubiri lwe e Kasubi- Nabulagala nga October 25,1884.
N'olwekyo mpulira ndi wa mukisa olw'ekitiibwa n'okukkakkanyizibwa, okubeera nti nabbulwamu Jjajjange oyo omuzira Ssekabaka Walugembe Muteesa I, era n'olw'okuba nti mbaddewo okutuuka olunaku lwa leero nga Abangereza beggyako obuyinza ne babuteeka mu ngalo zaffe, oluvanyuma lw'okubeera mu bukuumi bwabwe emyaka 68 be ddu!
Mu bbanga lino, twoleseddwa embeera ez'obuyinike. Kyokka wabaddewo n'essanyu! Byonna mu byonna, twebaza Katonda olw'ekisa kye, okwagala n'okulafuubana kwonna okukoleddwa Abamisani, okukulaakulanya eggwanga lyaffe n'ensi, Uganda.
Kati nga bwe twefuze, nsaba mwenna okukola n'amaanyi gammwe gonna mu buli kye mukola, okusobola okuyitimusa ekitiibwa ky'Obwakabaka bwaffe obw'enjawulo n'ensi Uganda.
Tuleme kukkiriza njawukana mu mawanga, eddiini ne langi okwabuluzaamu abantu baffe.
Katonda awe omukisa Uganda,
Sir Col. Edward Muteesa II,
Kabaka
9th October 1962
Ssekabaka Muteesa II

__._,_.___
Reply via web post | Reply to sender | Reply to group | Start a New Topic | Messages in this topic (2) |
.
__,_._,___
0 comments:
Post a Comment