UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Abaana b’omugenzi Col. Drago balumirizza Sarah Nkonge okubakaka okutunda ekizimbe-fraudstars in statehouse

Abaana b'omugenzi Col. Drago balumirizza Sarah Nkonge okubakaka okutunda ekizimbe

 


KAMPALA


Abaana b'omugenzi Col. Drago Nyanzi beegaanye ekyapa omugagga Teopista Nabbaale ky'alina ku kizimbe kye baaguza omusuubuzi Charles Jingo ne bagamba nti Sarah Nkonge ne Florence Kiconco baabayita mu maka ga Pulezidenti e Nakasero ne babakaka okukitunda omulundi ogwokubiri.


Abaana abaakulembeddwa mukulu waabwe, Sarah Kayima n'omusika Drago Kayima baagambye nti Sarah Nkonge ne Kiconco baabakaka bakkirize okuguza Kaamuswaga ow'e Kkooki ekizimbe kino so nga baali bamaze okiguza Jingo. Ekizimbe ekiriko enkalu kiri ku poloti nnamba 1 mu Kampala okumpi n'awali ppaaka ya takisi empya.


"Baatutuuza mu lukiiko e Nakasero olugenderera okuddamu okutunda ekizimbe ne tukigaana. Waayitawo akabanga katono ne baddamu ne batukubira essimu nti mujje ku 'State House' e Nakasero era abamu ku bannaffe abaagenda baakomawo n'obukadde 20 buli omu," Sarah Kayima bwe yagambye.


Yannyonyodde nti baganda be okuli; Hamidah Kayima ne Mariam Kayima nga bakomyewo awaka baamugamba nti Sarah Nkonge yabateeka mu mmotoka ye n'abavuga okuva e Nakasero ne boolekera 'Hotel Africana' gye yabaweera ssente zino.


Ye Hamidah Kayima, omu ku baafuna  ssente zino yagambye nti, "Bwe twatuuka ku Africana baatugamba nti ebya Jingo tubifiise kuba baali bagenda kuteeseganya naye mu nteekateeka ey'okusobozesa Kaamuswaga okutwala ekizimbe kino.


Twabuuza Nkonge nti ssente ezituweereddwa ze zaali ziguze ekizimbe? Ko ye nti ako kaali kasiimo okuva ewa Kaamuswaga banywemu ssooda. Bwe munakkiriza okukituguza tujja kuddamu tuteese."


N'agattako nti, "Twabagamba nti wadde mutuwadde ssooda ekizimbe kino baakigula dda era ebyammwe tebitukwatako. Nkonge n'atugamba nti musooke munywe ssooda ebirala mujja kubimanya. Yatuzza ku mabbali mu kaabuyonjo n'atuwa obukadde 20 buli omu era n'atugamba tusayininge ku lupapula okulaga nti ssente tuzifunye."


Kaweefube w'okufuna Sarah Nkonge ne Florence Kiconco yagudde butaka ng'essimu ezimanyiddwa teziriiko.


MUKWABA KATENDE

Essomeddwa Emilundi 77 77 Ebirowoozo 1 1
abantu ba uganda balemeddwa okuyiga museveni!of all people sarah nkonge teyandyetabye mukiba bizimbe kubanga naye alina ebyokumubbako!20 - Nov - 2013 13:15

Ekirowoozo Kyo ! 

Omutwe
Ekirowoozo
 

 

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers