{UAH} BIG 'DADA' REBORN
OMWANA agejja buli olukya yeeraliikirizza bazadde be ne basaba abazirakisa babayambe kuba ng'oggyeeko omugejjo, alya ekisusse.
Angella Katushabe ne David Bushazi ab'e Katikala mu disitulikiti y'e Kibale, abazze ku kitebe kya Vision Group (efulumya ne Bukedde) bagamba nti mutabani waabwe Isaac Akahinda alina omwaka gumu n'emyezi munaana wabula alina ekizibu ky'omugejjo.
Katushabe agamba nti omwana ono yamwezaalisa ng'ayambibwako muliraanwa era yasumulukuka bulungi kyokka n'atandika okugejja, nga mu wiiki ssatu, baamupima nga wa kkiro 10.
Agamba nti baakoma okumupimisa ku myezi mwenda ng'azitowa kkiro 50 ne bamutwalako mu ddwaaliro abasawo ne bamukebera nga talina kirwadde kyonna wabula ne babasindika e Mulago.
Enjala ebeera emuluma buli kiseera nga ku makya anywa ebikopo by'obuugi bisatu, mu ttuntu bisatu n'olweggulo bisatu nga totaddeeko mmere n'okuyonka.
Tayogera, tayavula, tayimirira wade okutambula era buli kimu akikolera w'atudde. Basaba alina obuyambi n'obujjanjabi abafunire ku ssimu 0785465376.
0 comments:
Post a Comment