{UAH} SSEKANDI MU LUKIIKO LWA AFIRIKA NE BUWALABU
Omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi atuuse wano mu bwakabaka bwa Kuwait gy'akiiridde Pulezidenti Museveni mu lukiiko olugatta abakulembeze b'amawanga aba Afirika ne Buwalabu oluggyibwako akawuuwo wano enkya ku Lwokubiri mu Sheraton Hotel, luggwe ku Lwokusatu.
Mw.Ssekandi ava mu lwa CHOGM e Colombo mu Sri Lanka, ayaniriziddwa Minisita wa Kuwait....omubeezi ow'enkolagana ya Uganda n'amwanga ag'omuliraano Asumani Kiyingi, n'omubaka wa Uganda mu Saudi Arabia ne Buwalabu yonna Dr. Rashi Ssemuddu.
Minisita wa Uganda ow'ensonga ez'ebweru Sam Kuteesa yasiibye mu lukiiko ne bakulu banne nga bayitayita mu binaateesebwako bakama baabwe.
Minisita omubeezi ow'ebyobuvuvi Muky. Ruth Nankabirwa naye w'ali wano nnyo.
Abakulembeze abalala abaliwo, mwemuli Paul Kagame owa Rwanda, Uuhru Kenyatta owa Kenya, Omar Hassan El Bashir owa Sudan Al Ady owa Misiri, Robert Mugabe owa Zimbawe, n'abalala bangi. Omulamwa gw'okuteesaako bya nkulakulana naye ng'ebikolwa eby'ekizigu, awamu n'obusambattuko e Syria, Misiri ne Libya bye bimu ku by'okuteesaako.
0 comments:
Post a Comment