{UAH} NRM CAUCUS ENDORSES UPDF DEPLOYMENT IN SOUTH SUDAN
BYA AHMED KATEREGGA
ABABAKA ba Paalamaneti ab'akabondo ka NRM eggulo baawagidde gavumenti okutwala amgye mu South Sudan kyokka ne bagamba nti esaanidde okukikola mu butongole n'ekibiina ky'amawanga maagatte awamu n'omukago gwa Africa nga bweguli e Somalia.
Ensonda mu lukiiko lw'akabondo kano olwatudde mu ofiisi ya Pulezidenti emya okumpi ne Paalamenti, nga lukubirizibwa Nampala w'oludda lwa Gavumenti Muky. Justine Kasule Lumumba, zaategeezezza nti Minisita w'ebyokwerinda Dr. Crispus Kiyonga bwe yamaze okunnyonnyola Paalamenti akawonvu n'akagga, ababaka abasinga baawagidde Uganda etwaleyo amagye, olw'okukuma emirembe n'okukwasisa maateeka kyokka ne bagamba nti erina okuba nga yayitibwa mu butongole gavumenti ya South Sudan, n'ekibiina ky'amwanga amagatatte awamu n'omukago gwa AU era ng'ekoze endagaano omunaasasulirwanga omusaala n'ensako abajaasi Bannayuganda awamu n'okubaliririra singa baba battiddwa oba nga balumiziddwa. Kino oluvannyuma kyakasiddwa Minista Lumumba kennyini.
Ensonda zaagambye nti Dr. Kiyonga, eyabadde y'ava e Rwanda gye yakoledde endagaano ya "tontabalanga nange siri kutabaala ne Kenya ne Rwanda, yategeezezza nti Uganda yatutte amagye e Congo lwa byabufuzi nti kubanga omukago gwa AU tegukkiriza kumenya ssemateeka na kumaamulako gavumenti nga toyise mu kalulu. Yagasdseeko ebyenfuna nti Bannayuganda bangi bakolerayo, n'azzaako ey'ebyokwerinda, nti kyewaggula Joseoph Kony abadde asobola okugufuula omugano okukomawo okutigomya obukiikakkono bwa Uganda, ney'okuna ya bwesseruganda bwa nyinoomu, nti Bannayuganda balaba abantu ba South Sudan nga baganda baabwe era bannyinaabwe be baabadde balina okudduukirira nti kubanga omuliraano gwokya bbiri.
Ensonda zaagambye nti Dr. Kiyonga, ng;'ayambwako omubeezi we Al Haji Lt. Gen. Abubaker Jeje Odong, yakozesezza akabondo ka NRM ng'okwegezaamu nge yeetegekera Paalamenti yonna etandika okutuula enkya ya leero eteese ku nsonga ya South Sudan. Lt. Jeje Odong, yasisinkanye akakiiko ka Paala menti ku Lwokuna ne ku lwokutaano wiiki ewedde kyokka nga teyawadde babaka ebbaluwa Pulezidenti Sava Kiir kwe yasabira mukulu munne Pulezidenti Museveni kusindikayo magye okutuusa omuduumizi w'amagye Gen.Katumba Wamala lwe yategeezezza nti amwanga gombi gali mu kuteeseganya ku nsonga eno.
Omwogezi wa Paalamenti mukly. Hellen Kaweesa yategeezezza BUKEDDE eggulo nti Paalamenti yakutandika okutuula enkya ya leero ku ssawa 4.00, Minisita ayanjule ekiteeso kye mu butongole, aba baka batandike okukiteesaako okutuusa nga bakiyisizza.
Obutafaanana ng'ensonga endala mu ssemateeka wa Uganda, Pulezidenti z'akola ne zimala kukakasibwa Paalamenti oba oluvannyuyma ne zikakasibwa Paalamenti (approval), eky'okutwala amagye ebweru, Paalamenti kyagireka kigisibwe emikono ng'erina kukkiriza (rectify).
0 comments:
Post a Comment