UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Wuliriza Rediyo y'Abaganda - ABAana BA KAtonda

Ssebo oba Nyabo,

Abaganda mwenna muyitibwa ku "Kyoto Muzaawula" buli Lwamukaaga.

"Wooli Nyweera" buli  Sande.

Bwonooba toli mu Ssinzizo oba bwonovaayo.


Mujje mukiike mu Lukiiko lw'Abazzukulu ba Buganda. Ku Kyooto Muzaawula.

http://ababaka.com/

Skype eri  Ngabo ya Buganda.
 Essimu abali ebweeru wa Bungereza mukube 44-208-911-7298

Oba e-mail:
 info@ababaka.com
ngaboyabuganda@gmail.com


Waliwo Rediyo nnyingi era bangi tuziwuliriza. Bweziba zituyamba ekyo kirungi ddala.

Wabula ggwe Omuganda wooli wuliriza rediyo y'Abaganda ababaka.com

Abazikwatako abamu bagamba nti,
"Abaganda tulwanye entalo nnyingi naye nga ezisinga nfu. Nga tetumanyi gye tuva wadde gye tulaga."

Mulimu ebyafaayo bingi ddala era nebyokuyiga bingi ddala ebitalimu mpulunguse oba kyekubiira.
Kati ojja kulwana ngomanyi wa gyoova era ne gyolaga.

Manya abantu abatadde Buganda mu Ddubi okuviira ddala mu Mirembe gya SSekabaka Muteesa I. Olowooza nti ensobi ziddibwamu lwa butamanya abazikola oba zigendererwa okuziba abatamanyi amaaso?

Ggwe Omuganda abaana bo bamanyi gye bava ne gye balaga oba "Gyamera gyeene"?
Ye ggwe omanyi gyoova ne gyolaga oba oli "Kyetondeke ekitooke baali...."?

Bwosanga bwumuddemu lindako.

Buli Lwamukaaga ne Sande esaawa 4 ezenkya PST oba 7 ezeggulo EST.
E Buganda saawa 3 ezekiro.
Mukama abeere nammwe.

Nze ndi Kitumwa,

Rev. Jessica Nakawombe

Ssabasajja Awangaale.

"Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)


_
.

__,_._,___

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers