UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} KYANKWANZI RETREAT

BYA AHMED KATEREGGA

KYADDAAKI omumyuka wa Pulezidenti Mw. Edward Kiwanuka Ssekandi ne  Katikkiro wa Uganda Mw. Amama Mbabazi baatadde emikono gyabwe ku biteeso ebyasabye Pulezidenti Museveni asimbwewo NRM bulambalamba nga tavuganyiziddwa ku bwapulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa bonna okwa 2016.

Mw.Mbabazi yeeyamye nti teyeegwanyizangako kuvuganya Pulezidenti Museveni n’asaba Pulezidenti Museveni obutawuliriza ng’ambo zimubungeesebwako ,ze yayise wolokoso nti wabula akozese ebitongole by’eggwanga ebikessi, bimubuulirenga ekituufu. “Gavumenti nnyingi ezikolera ku ng’ambo zigudde, NRM tesaanidde kutambulira mu buwufu bwaazo,” bwatyo bwe yategeezezza, nga yenna muwooteevu.

Ate Pulezidenti Museveni yeebazizza ababaka okuyisa ebiteeso ebyo n’agamba nti si bya nkomeredde nti olukiiko olutongole  obuyinza okusalawo ku nsonga eno (okumusimbawo obulambalamba nga tavuganyiziddwa) lwe lukiiko tabamiruka.

Ebiteeso ebyasooseo kubaako emikono 190 nga Mw.Ssekandi ne Mw. Mbabazi, era Ssaabawandiisi w’ekibiina be bamu ku baabadde batasoose kussaako ku Lwokubiri, we lwazibidde, nga nabo bataddeko nga Mw.Ssekandi wa 201 ate Mw. Mbabazi wa 202 era kati emikono giri 215 ng'eyasembyeeyo yabadde Capt. Mike Mukula, omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala obuvanjuba bwa Uganda.. “Ebibiina byobufuzi byonna mu nsi gye bifa byenkana, tebikoma ku kuwangula kulonda kyokka naye n’okussa mu nkola bye biba by’asuubiza mu manifesito,tetugenda kudda mu kuigezesa nga tulina omugoba omulungi, era atuvuze obuklungi. Noolwekyo tusaba abo bonna ababadde baagala okufuuka kaasa bamwesimbeko babiveeko kubanga ekikulu sib a ng’abantu kufuga, wabula kibiina kubeera mu buyinza,” ekiwandiiko ekyasomeddwa omubaka Evalyn Anite (NRM Bavubuka Bukiikakkono)i bwe kyategeezezza kyokka nga tekyayatuukirizza mannya g’ababadde beegwanyiza obwapulezidenti mu 2016.

Ekiwandiiko kyagambye nti Pulezidenti Yoweri Museveni Uganda agiggye wala n’agiyisa mu mayengo mangi nti era kati w’egenda okutandika okusajjakula mu byenfuna nti noolwekyo tesobola kukyusiza awo mugoba waayo. “Tukubira Pulezidenti Yopwri Museveni omulanga akkirize okwesimbawo ku kaada ya NRM ku bwapulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa bonna okwa 2016,” ekiwandiiko bwekityo bwe kyategeezezza ne kyongerako nti “Tusaba abakulu abamu abaagaka okumukwata mu kirevu nga baagala okumwesimbako mu 2016 bamuvuganye okubivaako kubanga bisobola okwugootaanya obwasseruganda bwannoomu obuli mu kibiina ate era tubasaba kakuyege waabwe bamukole mu musana okusinga okukuta mu bukundikundi .”

Ababaka bavumiridde bannaabwe abamu  be baagambye nti balina omulugube gw’okufuga ne bagamba nti nga tebannayagala kwetuusa ku biruubirirwa ebyabwe ku bwabwe ng’abantu basooke, baloweooze ku kibiina. “Gwe walabyeko ye mwana,” ekiwandiiko bwekityo bwe kyagambye ne kigattako nti Pulezidenti Museveni by;’akoze bye yogerera mu kuwopma omutwe mu lutalo lw’okwenunula n’okutebekneza eggwanga awamu n’okutebenkerezaako amawanga amalala ag’omuliraano.

‘Abakulembeze tebakyusibwakyusibwa nga bikooyi singa ye yalio emmanya y’enkoko, Uganda yandibadde yakulakulana dda kubanga okuva mu 1962 y;akafugibwa bapulezicdenti munaana naye emirembe, obutebenkevu n’enkulakulana ebirozezza mu myaka 28 egy’obukulembeze bwa Pulezidenti Museven obutabaddemu kusasagasagana,” bwekityo bwek yagambye.

Kwe kutegeezan nti ab’oludda oluvuganya abakimanyidde ddala nti tebasobola kuvuganya Mw.Museveni ne bawangula be babityebeka nti afuze nnyo ne banokolayo amawanga nga Singapore awali Katikkiro Li Kuan Yu ne Ethiopia awabadde Katikkiro Meles Zenawi, eyasooka kubwapulezidenti n’oluvannyuma n’adda ku bwakatikkiro, abaalwa ennyo mu buyinza, nti baaleka amawanga gaabwe balina ke bagakoledde. “omweyogereze takusuuza k’oli nako, abalala tebajja kututiisatiisa kutukyayisa mwagalwa waffe. Nkubira omulanga bakama baffe mu kibiina abeegwanyiza obwapulezidenti okugira nga balinzeeko tumale okutuusa ekibiina kyaffe ku buwanguzi. Okwegwanyiza si kibi naye tekirina kwonoona bwasseruganda mu kibiina, okwonoona ebituukiddwako, n’okuggya abantu ku mulwama ne badda mu byabufuzi. Ebiruubirirwa by’ekibiina kyaffe bye bisaanidde okukulermbera ebiruubirirwa bya basekinnoomu ne biryoka bigoberera,” bwatyo Muky.Anite bwe yagambye.

Kwe kukubira ng’asaba Pulezidenti Museveni yeesimbewo, abalala bonna mu NRM tebageza ne betantakla okumuvuganya era enkiiko za NRM omuli olw’okuntikko, olufuzi n’olukulu zonna zimuwandeko eddusu ayitemu bulambalamba.

                Ensonga zaagambye nti ababaka abamu bazze n’ekiwandiiko, ekitaasaanyiziddwa, eky’eyali Ssaabayeekera wa NRM/NRA gye kyafulumya nga March 11 1985 wansi w’omutwe “Who will win the war,” ekitegeeza nti luddaki (olwa gavumenti ya Obote ll n’olw’abayeekera) olunaawangula olutalo n’amaliriza ng’anenya abaagenda ebweru okunoonya obuyambi bw’olutalo omuli n’ebyokulwanyisa, abaali bajkwananyizibwa Mw.Amama Mbabazi, bwe baalemwa, abayeekera ne beetasa ku lwabwe nga n;’emmundu ze baalina mpa we zaaga. Dr. Kizza Besigye agamba nti Amama eyali yapaatiikibwako erinnya lya “Kalyabulo,” balikyusa ne bamutuuma “Kalyasausage.” Wabula Besigye bwe yatandiikirza bino, omumyuka wa ssentebe wa NRM Al Haji Moses Kigongo yamulabula okukikomya nti kubanga ebyo byali byama bya mu zaaliro, ebitayogerwa.

                Eyali omumyuka wa Pulezidenti Polof.Gilbeert Bukenya, eyaweze nti tekigenda kumulobera kuvuganya Mw.Museveni munda mu NRM n’ebweru waayo. Omulala asongwamu ye Sipiika wa Paalamenti Muky.Rebeca Kadaga kyokka ensonda mu kakiiko ka NRM ak’okuntikko zaategeezezza nti yamala ddao kweyama nti tagenda kuvuganya Pulezidenti Museveni nti kyokka abalala tagenda kubalekera. Bukenya naye bwe yagambanga.

 

Ends

 

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers