UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Omara-Mu7's persecutor with his wife...

Wuuno agonza Sam Omala ng'eryenvu
Kampala | Feb 16, 2014
Nalubwamang'anywesa bbaku tuzzi.
  • mail
  • img




Bya SHAMIRAH NABIDDO 
BW'OBA obadde otunuulira Sam Omala mu bikwekweto n'okukkakkanya obujagalalo naddala mu Kampala n'emiriraano ng'akambuwala naye ate bw'odda mu famire ye muntu alina omukwano, okusinziira ku mukyala we Harriet Nalubwama.
Omala eyasangiddwa mu maka gaabwe e Wandegeya obulamu bwe abwogerako bwati: 
Nzaalibwa ku kyalo Senda mu disitulikiti y'e Tororo mu maka ga Paul Oboti ne Beatrice Apio nga ndi mwana wa 10 ku baana 17 omuli abalongo ba mirundi 3.

Nayingira poliisi mu 1980 oluvannyuma lw'okusendebwasendebwa kitange eyali omujaasi wabula tebyali byangu.

Omala ng'ali ku mulimu mu Kampala.

Nakola emikwano mingi egyampanga amagezi agatali gamu ne ntuukako mu mawanga g'ebweru. 
Yadde kitange ye yansindiikiriza okuyingira mu poliisi, nagyagala era omulimu gwange ngwenyumiririzaamu olw'ensonga nti buli kye nnina gwe gunsobozesezza okukituukako.

Mu byonna bye nfunyeemu ekisinga okunsanyusa ye mufumbi w'eddigobe, Harriet Nalubwama nga mu mukwano gwaffe guno Mukama atuweereddemu abaana bana."

Sam Omala n'abaana be.

Omukyala
HARRIET NALUBWAMA omukwano gwabwe agwogerako nga ogwo ogulinga akasana akaberyeberye: 
Nze banzaala Kyamulibwa ku kyalo Kisangazi mu disitulikiti y'e Kalungu. Nzaalibwa omwami Leonard Ssegendo n'omugenzi Lucia Nanfuka.

Twakamala n'omwami wange emyaka 14 ng'era mu kunkwana yamala emyaka ebiri nga tampeeza okutuusa lwe nakkiriza.
Twasinkanira Kalungu ng'eno gye yali akolera ate nga tuliraanye barakisi gye yali abeera. 
Mu myaka ebiri gye yamala ng'ankwana nali mwesulubabba naye nga ye mumalirivu.

Olunaku lwe bwakya n'antegeeza nga bwe bamukyusizza agenda Kalangala nalaba nga ng'enda kumufiirwa kuba eno nali simanyi nayo. Kw'olwo seebaka nga mbirowoozaamu era we namanyira nti ddala mmwagala.
Natuukirira maama ne mmutegeeza ekigenda mu maaso ng'ono ye yang'ambira muzeeyi era teyankaluubiriza. Mu 2007 twategeka embaga ne mmugoberera e Kalangala era eno gye twazaalira omwana waffe asooka.

Omwami n'omukyala Omala.

Ng'oggyeeko kacaayi aka kaawa omwami wange anyumirwa nnyo okusoma ebitabo by'amateeka by'agamba nti ye 'Bayibuli' y'omulimu gwe.
Bw'aba awaka ebiseera ebisinga abimala na baana be nga bazannya mpozzi n'okubayigiriza olulimi lwabwe kuba bakozesa nnyo Oluganda n'Olungereza.
Era ng'amaka bwe gaba waliwo lw'adda awaka naddala ng'ava mu bikwekweto nga munyiivu olwo n'antuukirako, kye nkola muwa obudde n'asooka akkakkana awo amaka ne gannyuma.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers