UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} NDABA N'EBISIBA EMMERE BABIYITA BYAAYI!


 

Katonda Mega,
Mukyaala wa Katonda we,
Katonda Afirika Omutukuvu.
 
London 15th April 2014.
 
 
NDABA N'EBISIBA EMMERE BABIYITA BYAAYI!
 
Wagamba nti omwaagala! 
N'omukakasa nti okutuusa okufa toli mukyaawa,
Nti era teri mulala. Bweyakukwaata ne malaaya
Wamubuuza nti "Malaaya ssi mukazi"?
Kko yye nti "Owange, Katonda amutuumye malaaya,
Ggwe omuyita mukazi! 
Kale, ndaba n'ebisiba emmere babiyita byaayi"! 
 
Omwaana wa bandi wamujja mu bakadde.
N'obasubiza ng'okakasa nti oli mukuuma bulungi.
Katonda wamulayirira nti muli omu era nti toli mujerega!  
Naye jjuuzi bweyakubuuza lwaaki okukuta ne Nnakalanga!
Wamubuuza nti "Nnakalanga ssi mukazi"?
Yii!  Kale ku ggwe Nnakalanga ssi Nnakalanga wabula naye mukazi!
Ani aganye?  Ndaba n'ebisiba emmere babiyita byaayi"!
 
Wali tonamufuna, watulemesa ffena okuwummula!
Anti buli kadde nga tulina okumukunoonyeza omulabeko.
Watujjanga ku gyaffe tumale okukuwuliriza bwotunyumiza
Olugero lw'obwagazi bwo!  Bwewamuwasa netussa ebikkowe!
Kati tukulaba wemulula oyolekera ewa Nnamagwatala.
Owoza mbu "Nnamagwatala ssi mukazi?".
Tulemeddwa bwetugaana.  Ggwe ate n'ebisiba emmere babiyita byaayi"!
 
Bakubuuza nti munno ali atya? Kko ggwe nti gyaali, era afumba!
Togaanye, omukyaala talina musango!
Kati ate watuuka otya okutuuma hawusi gaalo akayu akakyamirwaamu?
Buli ttumbi munno omugamba nti ofuluumyeeko wabweru mu kayu.
Kyokka bwoweta owetera wa hawusi gaalo!  O! oswadde okubuuza!
Oyagala tukuyite omusajja?  Mbu "Siri musajja?  Nina okwetaaya"!
Ggwe eyetaayiza mu kayu?  Aha!  Oba oli musajja,
Ndaba n'ebisiba emmere babiyita byaayi"!
 
 

Katonda Mega,
Mukyaala wa Katonda we,
Katonda Afirika Omutukuvu.
 
London 15th April 2014.

Your screen elements are hidden from view. Press Esc or move the cursor to the centre of the screen to return to Mail.

Press Esc or move cursor here to return to Mail.
by szeke on
by szeke
Take a look around.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers