UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} NYERERE LWE YALEMESA AMIN OKUFUGA OKUTUUSA OKUFA!

OLWALEERO nga April 2014, lwe giweze emyaka 35 bukya amagye ga Tanzania nga galwanira wamu ne Bannayuganda abaali mu buwang’anguse bakunkumula omukono mu kibya omugenzi Al Haji Field Marshal Idi Amin Dada eyali  yeeranghiridde okukulembera Uganda obulamu bwe bwonna. Omuwandiisi waffe AHMED KATEREGGA MUSAAZI atuzzizzzaayo bwe byali n’okugerageranya bwe biri kati.

Olunaku lumu mu mwezi gwa March 1979, ng’olutalo lwa Uganda ne Tanzania lusensensedde okuva ku nsalo e Mutukula okutuuka e Masaka, tuba tukyali ku sosmero e Ssembabule P.7. School R/C, ne tuwulira omusinde gw’ennyonyi ogw’amaanyi, twafubutuka mu bibiina ne tusanga nga zaaali zigobagana. Tewaayita lutemya lwa liiso ne tuwulirao kubwatuka okw’amaanyi, okwaddirira ekikka ekikwafu. Ennyonyi zopmbi zaali za ggye lya Uganda ery’omu bbanga nga za kika kya mig 21 era emu yali ekubye endala nga kigambibwa nti omugoba waayo yali agitolosa okwegatta ku Batanzania. Twadduka okugenda ku kyali Byesika, ekyali kyesudde mayiro nga ssatu okuva ku ssomero gye twasanga abantu abalala bangi nga beetereza ebipapajjo n’obulere bw’omugoba eyali attiddwaamu.

Olutalo lwayongera okusembera era ku Lwomukaaga olwaddako, eyal;I omumyuka w’omuduumizi wa Simba Mechanised Reconaissance Regiment Capt. Bernard Rehururu, ng’ali wamu n;eyali Assistant District Commissioner wa Mawogola District, Haji Bello (yali asiramuse nga y’akalama olugendo olutukuvu olw’e Makka n’e MadiinaAmin bwe yavaako n’addayo mu Bukatoliki) n’eyali omwami ow’essaza Sgt. Francis Kasozi, yakuba olukung’ana n’alagira abantu bonna okwamuka akabuga k’e Ssembabule era n’amasomero gonna ne gaggalawo. EKyasingao kutwewuunyisa be basibe abadduka n’abaserikale okunoonya obubudamu, mu kifo ky’okutoloka!

Ku kawungeezi ka  Sande, omusajja oluvannyuma nti eyategeerewa nti yali Kajubi okuva e Katimba (eyalya obwami obw’essaza Mawogola mu gavumenti y’omugenzi Yusuf Lule) ng’ali ku kagaali aka China, yayitayita ku kyalo ewaffe e Nnambiriizi ng’atemya ku bantu bakyamuke nti kubanga enkeera waali wagenda kufuuka dwaniro. Abantu baabitwala nga byakusaaga naye ekiro kyonna, emmundu “Saba Saba” eyali esimbiddwa ku kigo ky’Abakatoliki e kitaasa ne ku lusozi e Kabukilwa mu Bukiomansimbi, yasula eboggola n’ebula okusuula ennyumba anjabayaba, era bwagenda okukya ng’abajaasi ba Tanzania bateevuunya nga munyeera olwo ng’aba Uganda bagumbye ku byalo ebituliraanye nga Miti, Bugaba, Kyemmwandwa ne Banda.

Okufaanana ng’emirundi emirala, ne ku ludo Abatanzanmia baakubwa nnyo ne babattamu bangi n’okubalumya era baagenda bakaaba nti “Askari ya Amin anapika bunduki ya mkononi” ekitegeeza nti “abaserikale ba Amin baali bakuba nnyo emmundu y’lmukono.” Mu katabo , War in Uganda the Legacy if Idi Amin (1982) abawandiisi bagamba nti ekibinja kya Tanzania ekyalwanira e Ssembabule kyali kya bachakamchaka, nti bwe baddayo e Mateete, ne bakyusibwa ne mussibwamu abajaasi abatendeke era n’omuduumizi n’akyusibwa ne bafuna munnabyabufuzi era omubaka wa Paalamenti.

Capt.Rwhururu (yawummulao mwaka oguwedde ku ddaala lya brigadier), mu katabo ke, From Cross to Gun, agamba nti aba akubye enfo ye ku kasozi Nsambya, mayiro taano ku luguudo oluva e Ssembabule okugenda e Mubende, ategeka okukola olulumba sinziggu ku Batanzania abaali bamaze okuwamba Ssembabule n’emiriraano, omu ku bajaasi be kwe kumutuukirira n’amugamba nti “Tulindeko okulumba tumale okuwuliera amawulire g’essawa 11.00 ez’ekawungeezi.” Naye teyali mubi n’akkiriza. “Kyennawulira lyalo doboozi lye nnali manyi obulungi erya (omugenzi) Lt.Col David Oyite Ojok (yafa mu 1983 nga Major General) ng’alangirira nti gavumenti ya Uganda yali wambiddwa,” bwatyo bw’ajjukira n’agamba nti baasiba busibu ngugu yaabwe kudda Mubende, Masindi, Arua n’oluvannyuma kuwang’angukira mu DR Congo ne mu Sudan!

Olutalo lwatandika nga October 1 1978 naye omwigezi w’amagye ga  Uganda yalwatula nga October 10 ng’agamba nti nga October 9 ku lunaku lw’ameefuga,abajaasi Abatanzania nga bayambwako abajaasi abapangise ne Bannayuganda abaalyamu ensi yaabwe olukwe bwe baali balumbye ku nsalo e mutukula n’e Kikagati. Koykka Tanzania bino yabyegaana n’egamba nti Uganda yali egisosonkereza. Wayita mbale omwogezi w’amagye n’ategeeza nti abajaasi ba Uganda omulabe baali batutte ntyagi era ne bawamba Sq.Miles 710 ez’akatundu ka Kagera Salient, okuva e mutukula okutuuka ku lutindo lw’e Kyaka ku mugga Kagera, akaali aka Buganda kyokka endagaano y’Abagirimaanyi n’Abangereza eya 1890, n’ekagemulira Tanzania. Polof.Lwanga lunyiigo agamba nti wetwefugira mu 1962 ng’Abangereza baagala okukaggya ku Tanzania bakaddize Buganda bagisasulemu amasaza Buyaga ne bugangaizi, oluvannyuma agaddayo e Bunyoro mu 1964.

Abajaasi ba Uganda batta buli kiramu n’okunyaga bhuli ekyali kisoboka era ente n’omunyago omulala baabitundanga kyere ku nduugo wakati wa Masaka ne Mubende. Amin yeewaana nti “Abajaasi ba Tanzania basinziira ebusuuka bw’omugga Kagera nga bakasuka bobbomu. Abajaasi ba Uganda teboonoona nsimbi za muwi wa musolo nti babaanukula. Batudde beewummuliddeko, bafuuwa sigala nga bwe banywa ku kaawa wa Uganda.” Olulala yeewana nti mu Kagerqa waasigalayo embwa ssatu ne kappa bbiri.

Kino omugenzi Julius Nyerere kye yali yalinda. Mu kitabo kye Sowing The mustard Seed (1996), Mw.Yoweri Museveni agamba nti Nyerere essanyu lye yalina ly’akirako lya mwonyi wa gonja, yakunga Abatanzania bonna ne Bannayuganda abali mu buwanga’nguse okwegatta awamu okulwanyisa omulabe. Bwe yali abasiibula yabagamba nti (Musizi April/May 1979,” Kale mugende baana bange, Amin ye ywakula olutalo ku Tanzaina…”Ababaka ba Paalamenti babiri abaali bava e Bukoba n’e Mwanza baafiirwa ebifo byabwe bwe baawakanya olutalo nga lugamba nti lujja kusinga kukosa bitundu ebyo. Olukiiko lwa OAU lwabiyingiramu, abajaasi ba Uganda ne bagumulukuka okuva ku kagera ne badda e Mutukula kyokka Abatanzania beewaana nti be babagugumbululayo.

Bannamawulire abaasakanga ag’olutalo luno, bagamba nti olumu gaababulanga. Naye baba bakyaganoonyeza mu kiwato nga mazina, Amin, eyaliko kafulu mu kukuba ebikonde, wkeugereesa nti mu kifo ky’okuyiwa omusaayi mu dwaniro, ye ne Nyerere babasse mu kisaawe e Nakivubo nga Muhammad Ali ye diifiri, bakubagane eng’uumi, anaasinga munne ng;’eggwanga lyel iwangudde. Nyerere yamussa kabbo ka nseko.

Amin era yali ajereze Nyerere nti singa yali mukazi yandimuwasizza. Ng’olutalo lunyinyintidde, Nyerere yageereseza ku Radio Tanzania Dar Es Salaam, eyali eweereza mu luganda ne mu Lugbara olw’olutalo, nti Amin tadduka, envi yali azidduggazza n’eddagala lya canta ng’ajja amukube embaga!

Abatanzania, abaali baduumirwa Gen.Msuguri, era nga ne Pulezidenti Jakaya Kikwete y’omu ku baali abalung’amya b’ebyobufuzi mu magye agaayitibwanga aga “Bakomboozi” ekityegeeza “abanunuzi,” baakuba ebibuga Masaka ne Mbarara babireka ku ttaka nti nga bagamba nti baali basomesa Amin esasaomo olw’ebikolobero bye yakola e Kagera. E Lukaya ne ku lutindo Katonga emmunsu yali etokota buteddiza era omugenzi Col.Muammar El Qadaffi owa Libya n’omugenzi Yasser Arafat owa Palestine baaweereza abajaasi okuyamba ku munwayi waabwe Amin naye tebalina kinene kye bataasa.

Mu pokopoko wa Amin, yalabula nti Abatanzania baali bajja n’enziku ey’olukonvuba eseenyuula enviiri kino oluvannyuma ky’alabibwa nti yali alagula Siriimu, eyatandikira ku mwalo e Kasensero ng’abantu balowooza nti gwali moteego okuva mu bizinga bye Bukerebwe mu Tanzania.

Nga April 11 1979, ekibuga Kampala kyawambibwa kyokka era Idi Amin, eyalina sitanseni ya   laadiyo mu motoka ye ennawunyi ng’akozesa n’omukutu gwa UBC ogwaweerezanga e bweru nga gali Butebi mu Teeso, yawakanya ekirangiro kya Oyite Ojok n’agamba nti y’akyali mu mitambo nti era ku pulovinsi 10, yali akyafugako musanvu. Nga  June 3 1979, Uganda yonna yali emaze okuwambibwa.  Ssentebe w’ekibiina kya UNLF ekyali kitondeddwaawo e moshi mu Tanzania, Bannayuganda abaali mu buwangaguse, omugenzi Polof.Yusuf Lule yayalayizibwa ku bwapulezidenti bwey amalako ennaku 68 zokka n’asikizibwa Gofrey Lukongwa binaisa, naye n’amalako emyezi 11 gyokka ne kuddako Paulo Muwanga eyamalako emyezi mukaaga gyokka n’ategeka okulonda kw’oku l;wokusatu nga December 10 1980 okwawangulwa Dr.Paul Kawanga Ssemogerere owa DP kyokka obululu ne bubbirwa Milton Obote owa UPC. Kino kyabalusaawo olutalo lw’omunsiko olwawomwamu omutwe Ssaabayeekera wa NRM/NRA Yoweri Museveni eyakwata obuyinza nga Jnauary 26 1986 era na buli kati y’akyalamula.

VOX POX

SAMWIRI MUGWISA: Olutalo olw’abalukawo Obote n’antumya ku lugendo lw’ennaliko e London mu Bungereza, ne neegatta ku Paulo Muwanga eyali omukulembeze w’ebyobufuzi nga mulung’amya w’ebyobufuzi mu magye.

ISRAEL MAYENGO: Yusuf Lule yampa obwami bw’okubeera Diisi wa Masaka n’enfuga okuva e Mutukula okutuuka e Nateete okutuusa ng’olutalo luwedde.

ROBERT SSEBUNNYA: Nali Nairobi mu Kenya ne neegatta mangu ku lutalo okutuusa e Kampala ne tusiguukulula Idi Amin.

 

 

 

 

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers