UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} Saleh alina amwambaza engatto?

Saleh alina amwambaza engatto?
Kampala | Apr 03, 2014
Omuvubuka ng'ayambula Salim Saleh engatto.


AFANDE Salim Saleh aliko ebitiibwa. Olaba alina n'amwambula engatto! Bwe yabadde ku mukolo ogumu ogw'Abasiraamu e Kapeeka, bwe baamuyise okwegerako eri abantu, yabadde alina okuggyamu engatto alinnye ku ttundubaali.
Yayise omuvubuka gwe yabadde atambudde naye n'amuyamba okuggyamu engatto, abaamulabye kwe kubitebya nti omugagga tabulako baleebeesi.
Kyokka olwamaze okwogerako eri abantu, yatambulidde mu bigere n'addayo mu katebe ke. Ku mulundi guno omuvubuka teyazzeemu kuzimwambaza, wabula ye kennyini ye yazeeyambazizza.
Yabadde Kasiribiti e Kapeeka ku Ssande mu Duwa y'omugenzi Haji Abudul Musisi era abanene
bangi n'abagagga abaabaddeyo.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers