{UAH} FW: OKUBIKA OMULANGIRA KIMBUGWE ASANASIO
Gutusinze nnyo Ayi Ssabasajja!!!
Obuganda tufiiriddwa nnyo!!!!
Mukama abasibe ekimyu.
Rev. Jessica
“Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go.” (Joshua 1:9)
On Thursday, May 8, 2014 3:53 AM, Production Manager <pmrediyoyabaganda@gmail.com> wrote:
OKUBIKA OMULANGIRA KIMBUGWE ASANASIO
Omwaami Mubiru Njuki, Omuuwandiisi w’Olukiiko lwa Bazzukulu Ba Buganda International n’obuyinike obungi ennyo abika Omulangira Kimbugwe Asanasio muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa II eyaseeredde ku Monday nga 5 May ku ssaawa 6 ogw’ekiro ekikeesa olw’okubiri, oluvanyuma lwokujjanjabibwako akaseera katono nga akubiddwa olumbe lwa pulesa.
Omulangira Kimbugwe Asanasio yatendekebwa mu busirikale n’okukessi, era yoomu ku bavubuka mu lufuutifuuti abayitibwa abatiini abaali mu kitongole ekikuuma Ssekabaka Luwangula Muteesa II. Era yayita ku lugwaanyu mu lutabaalo lwa 66. Oluvanyuma gavumenti ya Obote nendala ezizze zigiddira mu bigere zibadde zimuwa ebifo by’obuweereza muzo nabigaana.

Yagenda e Kiboga natandika okukolera eyo egyigye, era eyo gyeyakulemberera batuuze banne okuzimba Ekklezia ye ki Orthodox mweyawereza nga omukubiriza wabakulisitaayo baamwo okumala emyaaka. Omulangira ono abadde muwagizi wa maanyi, omulungamya era omuwi wa magezi mu lukiiko lwa Bazzukulu Ba Buganda International. Omulangira ono ye Taata atuzaalira Omumbejja Nkiinzi omu ku bateesa abakuukuutivu ku Rediyo y’Abaganda ku http://www.ababaka.com/. Tusaasidde nnyo abomunju y’Omulangira, Abalangira bonna n’abambejja era n’Obuganda bwonna.
Omulangira Asanasio Kimbugwe yagalamizibbwa e Zirobwe mu Bulemezi kulwokubiri ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Omulangira Asanasio Kimbugwe yagalamizibbwa e Zirobwe mu Bulemezi kulwokubiri ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Gutusinze nnyo Ssaabasajja.
0 comments:
Post a Comment