{UAH} KAYUNGA HOSPITAL HAS ALSO GONE DOWN UNDER NRM/ MUSEVENI?
Bya SAUL WOKULIRA
ABABAKA ba palamenti abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku byenfuna by'eggwanga bawuniikiridde bwe batuuse mu ddwaaliro ekkulu e Kayunga ne balisanga nga lyafaafagana dda nga n'empeereza eziriyo mbi ddala.
Ababaka abaakulembeddwa ssentebe w'akakiiko kano, Xavier Kyoma bazze mu ddwaaliro e Kayunga okwetegereza oba nga ddala liri mu mbeera mbi era lyetaaga okuddaabiriza ng'abakulembeze b'omu kitundu n'abalwadde abalikozesa bwe baludde nga balyogerera.
Ababaka baasoose kwevumba kafubo n'abaddukanya eddwaaliro lino n'abakulembeze b'ekitundu abaabasabye balirambule beerabireko ebintu byonna bwe biyimiridde.
Baatambudde kisenge ku kisenge gye beewunyirizza oba nga ddala eddwaaliro lino likyasaana okujjanjaba abalwadde kubanga ebyuma byonna bikadde nga byatalagga sso ng'ebirala byakwegekereza bisobole okukolayo waakiri eddakiika emu.
Emidumu gy'amazzi gyatalagga ne gyabika, kaabuyonjo ezaali ez'amazzi zaafa, kazambi akulukutira mu buli kifo n'ebitanda abalwadde kwe beebaka okubakolako nabyo biri mu mbeera mbi sso ng'ebirala babitega biginji.
Ababaka bwe batuuse mu sweeta gye balongooseza abalwadde beewuunyizza nga wakyafu nnyo, ebyuma ebiriyo bifu ate ng'ekyuma ekimu eky'omulembe Gavumenti kye yabawa ekipya ttuku kyagaana okukola.
Omubaka Lulume nga yeetegereza entebe okutuulwa abakuulwa amannyo eyayulika.
ABASAWO N'ABAKOZI BANAFU
Omubaka wa Ntenjeru South, Patrick Nsanja yagambye nti eddwaaliro lino newankubadde liri mu mbeera mbi wabula n'abasawo abalikolamu bayitirizza obunafu n'okwebulankanya ku mirimu nga kino kyongedde okudibaga eby'enzijanjaba.
Ababaka baawuniikiridde bwe baasanze nga sitoowa y'eddagala nsibe nga n'abagikolamu okuli Fredrick Ssewanonda ne Barbara Nanteza bamaze wiiki bbiri nga tebalinnya ku ddwaaliro era ebisumuluzo bya sitoowa basula nabyo e Kampala. Kino kye kivaako abalwadde okujja mu ddwaaliro obutafuna ddagala.
Abakaka abalala okuli Dr. Lulume Bayiga owa Buikwe South ne Amos Lugoloobi owa Ntenjeru North baagambye nti eddwaaliro lyetaaga okulongoosa lisobole okuweereza obulungi abantu kubanga likola ku balwadde abava mu disitulikiti ezisoba 10 omuli Buikwe, Kayunga, Kamuli, Amolata, Apac, Nakasongola n'endala.
Gavumenti egenda kwewola obukadde bwa ddoola 15 okuva mu Saud Fund for Development okuddaabiriza n'okugaziya amalwaliro okuli Kayunga ne Yumbe.
Ssentebe w'akakiiko, Kyooma yagambye nti bye basanze e Kayunga biwuniikiriza kubanga buli kimu okuviira ddala ku bakozi, ebifo omujjanjabirwa abalwadde ne gye bagabira eddagala byonna bifu era baakufuba okulaba ng'eddwaaliro liddaabirizibwa.
--
H.OGWAPITI
-----------------------------------------------------
"To announce that there must be no criticism of the president, or that we are to stand by the president right or wrong, is not only unpatriotic and servile, but is morally treasonable to the American public."
---Theodore Roosevelt
0 comments:
Post a Comment