UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} BAKYEWAGGULA BA RIEK MACHAR BAKONKOMALIDDE E NTEBE

BYA AHMED KATEREGGA

PULEZIDENTI Yoweri Museveni abadde asuubira bakyewaggula ba Dr,. Riek Machar enkya ya leero, naye akanze kulinda nga tebalabikako. Abatumidde abakulu ku kisaawe e Ntebe gye baabadde balindidde ne bamutegeeza nti basitudde ne baddayo ewaabwe.

Bino byabadde Ntebe eggulo ekibinja ky'abakungu 10 okuva ewa Ssaabayeekera  Dr.  Riek Machar, be yabadde asindise mu Uganda ku Mmande okusisinkana ne Pulezidenti Museveni eggulo  ku ssawa 4.00 ez'enkya mu maka g'obwapulezidenti, bwe balemeddwa okumulaba nga bagamba nti tebaafunye babaaniriza na kubabudabuda, mu busungu ne bekandagga ne baddayo mu South Sudan.

Minista omubeezi ow'ensonga ez'ebweru Mw. Okello Oryem yategeezezza nti bakyewaggula bano bwe baabadde bajja , tebaalaze nti wabula baagudde bugwi. "Aba minisitule y'ensonga ez'ebweru twabadde tetukimanyiiko era ab'ekitongole ekikola ku kwaniriza abagenyi nabo babadde tebakimanyi," bwatyo Mw. Oryem bw'ategeezezza n'agamba nti "Kitukoze bubi  Pulezidenti abadde abalindiridde  ku ssawa 4.00 ez'enkya, okusanga nga bagenze."

Mw.Oryem yasambazze okwemulugunya kw'omwogezi w'ekibinja kino Mw. Mw.James Gatdet  Dak eyagambye nti gavumenti ya Uganda yakikoze mu bugenrevu okugaana okubasisinkana n'agamba nti Uganda yabadde eyagala nnyo okubasisinkana nti era bwe banaategeka olukyala olulala nga bayita mu makubo amatuufu omuli Minisitule y'ensonga ez'ebweru, y'akuligira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kwaniriza abagenyi okubaaniriza n'okubatwala ewa Pulezidenti Museveni.

Bakyewaggula baabadde bazze okukola enteekateeka za Pulezidenti Museveni okusisinkana Ssaabayekera wa SPLA Dr. Riek Machar mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia. Mw. Oryem yagambye nti Pulezidenti talina kizibu na kusisinkana Machar nti kubanga Uganda kye yettanira ye South Sudan okuddamu emirembe, esobole okugumbulayo amagye gaayo.

Ends,…

--
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers