{UAH} EBOLA
BYA AHMED KATEREGGA
AMAWANGA g'omu buvanjuba bwa Afirika gatudde bukubirire okutema empenda ez'okwerinda obulwadde namutta obwa Ebola obumaze okuwaguza okuva mu bugwanjuba bwa Afirika ne butuujka ku muliraano e DR Congo.
Olukuiikio luno olwatudde e Ntebe lwayitiddwa mimisita w'ebyobulamu oewa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda era nga lwetabyeemu bamimnista b'ebyobulamu okuva mu Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi, n'abavunaanyizibwa ku bitongole by'obulamui n;ebyn'entambula z'ennyonyi.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa munnamawulire wa Pulezidenti Muky. Lindah Nabusayi, abakulu bano bakaanyizza okukwatra awamu okulemesa Ebola okudda mu Uganda okuva ekitongole ky;lensi yonna eky;ebyobulamu lwekyeraaliikirira ngti Kenya eri ku ndebolebo .
Kwekukkanya nti buli kifo ekiyingirirwamu mu buvanjuba bwa Afirika, walina okubaawo okukebera abantu sikulwa ng'abamu bajja n'obulwadde namutta obwo.
Ends…
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment