UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} This is real madness naye agasajja kii temuswala?



TAATA AGANZIZZA MUKA MUTABANI WE !!
______________________________________
Kiki ekiyinza okunaawuula omusajja omufumbo akaddiye era nga Ssaalongo ate nga ssentebe mulamba owa LC n'alekawo mukaziwe n'aganza muka mutabaniwe?
______________________________________
Bombo wewali Ssaalongo Mulambuzi eyaganzizza muka mutabaniwe n'atuuka n'okumupaaza, n'amuggya mu maka ga mutabaniwe n'amutwala n'amupangisiza akazigo!

Omukazi Ssaalongo gwe yapaazizza wa mutabaniwe Kato ng'ono ye yamuweesa ekitiibwa ekya Ssaalongo!

Bombi batuuze e Mpaakawero mu kibuga Bombo, mu disitulikiti ya Luweero.

Obwenzi buno bwandivaamu ettemu kubanga Kato yatuuse n'okubuulira omusasi ono obusungu lwe bwamulinnya ku mutwe n'atuuka n'okukwata ekiso n'agenda ateege kitaawe amutte lwa mukazi!

Fred Kato, 25, abinyumya bwati:
Nateegako kitange n'ekiso nga njagala mmutte ave mu nsi eno olw'okunjagalira mukazi wange Annet Kabagasha, 23, gwe njagala okuzaama!

Ekituufu simanyi nsonga lwaki taata yasalawo okuganza mukazi wange kubanga sirina kibi kyonna kye namukola atuuke okunzigyako mukazi wange.

N'olunaku lwe twagenze ne ssentebe w'ekyalo Nkokonjeru n'oweebyokwerinda tumale tukwate taata lubona ng'ali bukunya ne mukazi wange, nabadde n'ekiso mu nsawo nga njagala mmuyiwe ebyenda waakiri bansibe.

Naye bwe namutuuseeko ng'ali bwereere mu nju gy'apangisiriza mukazi wange ne mmutunuulira butunuulizi.

ENGERI GYE YAMUSENZESENZE
___________________________________
Bino byonna byatandise mu May omwaka guno. We nasooka okwekengera kitange, kwe kulaba nga Annet atandise okweyombyayombya nti nnina abakazi abalala ebweru ekitaali kituufu n'akamu kyokka nga taata amuwagira!

Nakyewuunya kubanga buli lwe twatuulanga mu nsonga zino nga taata abeera ku ludda lwa mukazi wange okutuusa taata yennyini lwe yaleeta ekirowoozo nti twawukane ekintu kye nali sirowozangako!

Ku lunaku lw'okwawukana taata yagamba mwannyinaze Sylvia Nakato okugenda ne mukyala wange amuyambe okuggyayo ebintu bye mu nju yange era taata yangamba nti y'agenda okuwa mukazi wange ssente z'entambula okutuuka e Tooro gye bamuzaala.

Kyokka mu kifo ky'omukazi ono okugenda ewaabwe ate yazze wa taata n'amalayo wiiki nnamba ng'agamba nti taata tannamuwa ssente emitwalo esatu n'ekitundu.

Omutima gwatandika okumbuulira nti wandibaawo ensonga endala wakati wa taata ne mukyala wange.

Oluvannyuma lwa wiiki taata yafunye ssente n'aziwa mukyala wange ne yeefuula nti agenze ewabwe e Tooro so ng'agenze mu nju taata wange gye yamupangi¬sirizza e Nkokonjeru okumpi ne Bombo.

MUKWATA NG'ALI BUKUNYA

_____________________________________
Ku Mmande ng'ennaku z'omwezi 21 July, nalabye taata ng'alinnya bodaboda mu biseera by'olwegulo, omutima ne gutebeereza nti agenda wa mukazi wange.

Nagenze ne mbuuza maama nti taata aliwa n'antegeeza nti agenze mu lukiiko e Wobulenzi nti era si waakudda.

Nazze ewange mu birowozo bingi ne nnyimirira mu luggya okumala ebbanga naye nalabye maama nga naye tateredde nga yeetala okukamala era ne ndaba ne mwannyinaze Babirye ng'agenda ewa maama kwe kwagala okutegeera ekigenda mu maaso.

Nazeeyo ewa maama ne ntuula ku lubalaza mu nnaku empitirivu. Bwe zaatuuse ssaawa 4 ez'ekiro ne nsiibula maama.

Nabadde nnaakateekawo omutwe ku buliri ne mpulira omuntu akonkona ku luggi n'agenze okugulawo nga ye maama ne mwannyinazeBabirye.

Maama yangambye nti, "Mwana wange ebintu bizibu, okimanyi nti kitaawo ali wa mukaziwo kyokka nga yangambye nti agenda Wobulenzi mu lukiiko," Bino maama yabyogedde bw'akaaba amaziga amayitirivu.

Twagenze e Nkokonjeru taata gye yapangisiriza mukyala wange ne tufuna ssentebe w'ekyalo, Jemba n'oweebyokwerinda Kamaanya ne tugenda ne tukonkona mukyala wange n'afuluma, taata ng'ali bukunya.

Twamuwadde akaseera n'ayambala ssentebe n'amuyita wabweru n'amubuuza nti okimanyi nti oli mu kibi?

Taata yazzizza ssentebe emmanju ne boogera oluvannyuma twavuddeyo era taata n'addayo mu nju ya mukazi wange gye yasuze".

NNAALONGO ANNYONNYOLA
Nnaalongo Eva Nalwoga, agamba: "Ndi munyiivu, abaana bange bazibu, babadde bamanyi ensonga eno naye baasalawo okuginkweka kyokka ng'omwana wange Grace Babirye asula ku nju kwennyini Ssaalongo kwe yapangisiriza mukaamwana.

Mutabani wange Kato yangambako nti amaka gano gayinza okufuna ekizibu naye nga bwe mmubuuza tambuulira ekituufu nga kino yakakingamba enfunda bbiri.

Olulala yambuuza nti omukulu w'ekika y'ani ne mmugamba nti nze ndi mukazi Muganda siri Munyoro genda obuuze kitaawo.

Nnaakategeera nti bino byonna okubeerawo Kato yali abuuliddeko bagandabe abakulu naye nabo baatya okumbuulirira nga bagamba nti ekigambo kino kizibu okukibuulira maama.


--
Without God, our week would be: Sinday, Mournday, Tearsday,Wasteday, Thirstday, Fightday & Shatterday. Remember seven days without God makes one WEAK!!"And if Allah touches you with harm, none can remove it but He, and if He touches you with good, then He is Able to do all things." (6:17)

--
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers