UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} the gunning down by yet unknown assailants of Kassim Muwonge 'nsamba' and his niece, Sayida Namuyomba 'Nsamba' both from London

Bya ALI WASWA NE WIZIRI DAMBA

ABANTU b'omu kibuga Mbarara baguddemu encukwe, abazigu abatannategeerekeka bwe bakubye amasasi mu mmotoka ne gattirawo abantu babiri n'emmotoka n'ekwata omuliro.

Abattiddwa ye Moses Muwonge mutabani w'omugenzi Haji Kassim Nsamba e Nyamitanga ne Sayidati Nabukeera (muwala wa muganda wa Muwonge), Fiifi Yiga, era naye mutabani wa Nsamba. Muwonge abadde ow'emyaka 35 gyokka, Muvabulaaya abadde ku kyeyo e Bungereza eyazze okulya Idi enkulu n'abantu be ey'okubaawo enkya ku Lwomukaaga.

Emirambo gyabwe n'okutuusan'okutuusa kati gibadde gikyali mu ggwanika ly'eddwaaliro ly'e Mbarara.

Emmotoka abagenzi mwe babatidde

Obutemu buno bwabaddewo ku ssaawa 3:00 ez'ekiro ekyakeesezza eggulo, mu Kakoba Central okumpi n'essomero lya Alliance mu ggombolola ya Kakoba mu munisipaali y'e Mbarara, abagenzi bwe baabadde mu mmotoka Mark II, Muwonge gye yasaabukuludde nga yaakatuuka kuno.

Baabadde bava kucakalako mu mazina e Igongo nga badda ewa Hussein Nsamba, muto w'omugenzi ne bagwa mu bazigu, abaabakubye emikono nga babaleezeemu emmundu, ne bagaana okuyimirira.

"Baakubye amasasi mu mmotoka agaabakwasizza ne gabattirawo ne gakuba ne ttanka y'amafuta agaayase emmotoka n'etandikwa okutuntumuka," omu ku baduukirize, bwe yategeezezza n'agamba nti baayanguye okuleeta amazzi n'enfuufu omuliro ne baguzikiza kyokka ng'abaabaddemu bafudde.

Omujaasi Kato ne mukyala we abaakwatiddwa ku butemu buno

Nabukenya, abadde akolera mu Kampala nga ye yawerekedde ku kitaawe omuto e Mbarara balye Idi n'abooluganda ne mikwano gyabwe, be baasoose okulambula nga tebannagenda mu mazina e Igongo.

Akulira bambega ku poliisi e Nyamitanga, Catherine Oyeng, yategeezezza nti abantu basatu omuli n'omujaasi wa UPDF eyaakava e Somalia, eyategeerekeseeko erinnya limu erya Kato, bamaze okukwatibwa era okubuuliriza kukyagenda mu maaso.



--
"War is nothing but a  continuation of political intercourse, with a mixture of other means. Man will never be free until the last king is strangled with the entrails of the last priest." 

--
UAH forum is devoted to matters of interest to Ugandans. Individuals are responsible for whatever they post on this forum.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers