BULI kibuga kirina bannyinikyo ne Masaka alina ba Landiroodi abayimirizzaawo abasuubuzi. Abamu basolooza za mwezi ate abalala basolooza buli lunaku. Ebizimbe byabwe tebikomye ku kukyusa kifaananyi kya Masaka wabula bikirambye, nga bwe kutuuka mu kulagirira bwe bubonero kw'otambulira.
Eby'olutalo lwa Sabasaba olwasiguukulula Idi Amin babitadde ebbali ne bafungiza okukulaakulanya ekibuga ekyakubwa abajaasi b'e Tanzania ne kyonoonebwa. Omulamwa bali ku gumu gwa kuzzaawo "Buddu owaffe ow'edda" nga bw'ayogerwako mu luyimba lw'omugenzi Herman Basudde.
Mu luyimba lwa Basudde olwo, yasaba abagagga abalina eby'obugagga mu Kampala okudda e Buddu gye bazaalwa bakulaakulanyeyo ng'agamba nti Buddu bwe buddukiro era abagagga bangi baanukudde omulanga guno.
Baabano abagagga 36 aboogerwako nga bannannyini Masaka:
1– Dr. Herman Kigoye Byansi nga ono ye nnanyini Kamagwa House, Byansi House ebiri ku Eligin Street, Era yenanyini kizimbe okuli eddwaliro lya Byansi mu kibuga Masaka n'ebizimbe ebirala.

3 –Gerald Ssemwogerere ng'ono yali Meeya w'ekibuga Masaka nga ye nnannyini Ssese Corner, essomero lya St. Gerald Vocational Secondary
School n'amasundiro g'amafuta. Alina ettaka eriwerako mu kibuga Masaka.
6 –Lasto Mukalazi nnannyini Lastonet ate ng'alina n'ekizimbe ekirala ky'azimba e Kijjabwemi mu Masaka.
7 – Kaliisa Muto nnannyini
Muto General Hardware eyazimba 'akeedi' ey'amaanyi eyitibwa Muto Complex ku luguudo Eligin.
8 – Byansi Wasswa Kimanje nnan¬nyini kizimbe ekiyitibwa Chicken Republic n'ebizimbe ebirala era ono muganda wa Dr. Herman Kigoye Byansi.
10 –John Magala nnannyini Vienna Hotels okuli emu empya eri ku Ssese Street kumpi ne ppaaka ya takisi mu kibuga Masaka. Yasooka kussaawo wooteerku Horbert Street kw'agaziyidde n'aggulawo wooteeri endala n'okuzimba ebizimbe ebiwerako.
11 – Haji Elias Mpungu nga ye nnannyini kizimbe ekiri mu kkoona erigatta oluguudo lwa Eligin ku luguudo oludda e Kampala.
12 - Philly Lutaaya nnannyini Philly's Guest House n'ebizimbe ebirala.
13 – Batista Walugembe ono ye nnannyini Kalungu Traders alina ebizimbe ebirala mu Masaka ne bizinensi eziwerako.
14 – Gerald Kasozi nnannyini ssomero lya Bright Grammar eriri mu Nyendo. Alina ffaamu eyitibwa St. Francis of Assis esangibwa e Kyabakuza era alina ettaka mu bitundu eby'enjawulo mu kibuga Masaka.
15 – Edith Nansamba nnannyini Summer Inn eri ku Grant Street ne bbekeeri eriraanye akatale k'omu Masaka.
16 –Leonard Sserwanja nnannyini ssomero lya Leos Junior Primary School mu Nyendo ne Exodus Senior Secondary era mu Nyendo. Alina ggalagi n'essundiro ly'amafuta mu Masaka ne Nyendo.
17 – Mexodox Kasujja ali ku lukiiko oluddukanya Masaka Microfinance era ng'alina ekizimbe ku Elgin Street.
19 – Joseph Kiyimba nnannyini Ambiance e Masaka emu ku Disco Club Bannamasaka mwe basinga okuliira obulamu.
20 – Ronald Ssegawa nnannyini Buddu Plaza era alinamu n'ebyobugagga ebirala.
21 – Robert Kalumba alina ekizimbe okuli ddipo ya bbiya mu kibuga Masaka ne bizinensi endala.
22 – Herman Mutongole nnannyini
Bakagodo House n'essomero lya Masaka Primary School.
23 –Herman Muzeeyi nnannyini Hot Run Motel era alina n'essundiro ly'amafuta.
24 –Herman Kasozi nnannyini Nabugabo Sand Beach alina n'ekizimbe mu Nyendo.
25 –Pius Mugalaasi naye alina ebizimbe e Masaka gy'asibuka.
26 – Pauline Nakajubi owa Frankline House okulirana akatale
27 –Joseph Kiyimba gwe bamanyi ennyo nga Kiryaatabaala alina ebizimbe bibiri ne sitoowa za ssabbuuni
28 –Chris Ddumba nnannyini Chris Guest House
29 – Omusuubuzi Gonzaga nnannyini Kiwumulo Shopping Arcade.
31 – Richard Kalungi atunda obutimba, alina ekizimbe mu Masaka kyokka tekirina linnya.
32 – Lubowa Kisekulo nnannyini Havana Hotel eri mu Nyendo.
33 – Sotius Ssegawa nnannyini kizimbe ekiyitibwa Segken.
34 – Herman Ssentongo RDC w'e Kamuli era eyaliko Ssentebe w'e Ssembabule; ye nnannyini Pine League we bavugira emmotoka z'empaka.
35- Masaka Diocese ekulirwa Omusumba John Baptist Kaggwa nayo tebuusibwa maaso. Essaza lino lirina ebizimbe
okuli Social Center e Bwala, Sports Arena Recreational ground mu Nyendo, Jobasita ekiri mu Nyendo, ekizimbe okuli Centenary Bank n'ebizimbe ebirala eby'abapangisa.
36 - Dr. Blasio Kabugo nnannyini ddwaaliro lya Bulamu Medical Clinic ku Edward Street naye tabuusibwa maaso.
0 comments:
Post a Comment