{UAH} Engeri bankubakyeyo gye babaferamu ssente yeewuunyisa- EM translate plz?
Engeri bankubakyeyo gye babaferamu ssente yeewuunyisa
Buli mwaka Bannayuganda abali ebweru ku kyeyo bababba ssente ezisoba mu buwumbi bubiri. Kalondoozi wa Bukedde leero akulaze engeri Nakiranda gye baamubbako obukadde 150 ng'abafere beeyita abakozi b'omu maka g'Obwaopulezidenti.
MARGARET Nakiranda amaze ebbanga ddene mu Sweden gy'akolera obusomesa. Bwe yali eyo mu 2011, yawola Munnayuganda munne Hajji Meddy Kasujja doola 20,000 nga bwe yali amusabye nti kubanga yali afunye obuzibu mu mirimu gye.
Wabula Hajji Kasujja ssente yagaana okuzisasula.Muto wa Margaret ayitibwa Resty Nakiranda yali afunye mukwano gwe Simon Nsubuga Busagwa eyali agamba nti yali muserikale era eyabategeeza nti yalina mwannyina Ruth Nankya Namutebi eyali akola mu maka g'Obwapulezidenti era nti yali asobola okubayamba ne banunula ssente ezo mu bwangu okuva ku Hajji Kasujja.
Nakiranda bwe yakwatagana ne Nankya, yatandika okumufera ssente ng'akozesa olukujjukujju n'amanya g'abanene mu Gavumenti ne bamuferako obukadde obuli mu 150. Kyokka Nakiranda bwe yakomawo mu Uganda, Nsubuga eyali yeeyita omujaasi n'adduka ng'ategedde nti ebintu byali bimwononekedde.
Nakiranda bwe yalabye nga biri bityo, n'asalawo okutwala omusango mu kkooti ya Buganda Road ng'ayagala asasulwe ssente ze.
MARGARET NAKIRANDA
Mbadde mu Sweden okumala emyaka 24 era nkola busomesa. Mu 2011, waliwo omusajja Hajji Meddy Kasujja eyanneewolako doola 20,000 bwe yang'amba nti yali afunye obuzibu mu mirimu gye egy'obusuubuzi.
Olw'okuba nga nnali njagala okumuyamba kyampaliriza okwewola ssente nzimuwe akole ku bizibu bye. Ekyennaku omusajja ono yandyazaamanya n'agaana okunziriza ssente zange.
Muto wange Resty Nakiranda naye eyali abeera e Sweden yali afunye mukwano gwe Simon Busagwa eyali agamba nti mujaasi gwe yali afunidde ku mukutu gwa Facebook era bwe nkomawo mu Uganda baakwatagana n'amubuuliramu omusajja nga bwe yali atulyazaamanyizza.
Ruth Nankya Namutebi yeeyita mukozi mu maka g'Obwapulezidenti.
Busagwa yamutegeeza nga bwe yalina mwannyina Ruth Nankya Namutebi eyali asobola okutuyamba tufune ssente zange kubanga zaali nnyingi.
Nnali ndi awo Nankya n'ankubira essimu n'antegeeza nga bwe yalina obusobozi bw'okunnyamba okukaka Hajji Kasujja okumpa ssente ezo kubanga ye yali akola mu State House era n'akolagana ne Gen. Salim Saleh. Muli nnafuna okumwesiga kubanga essuubi ly'okufuna ssente ezo lyali limpeddemu. Nayongera ne mmubuulira nga bwe byali era bwe yamala okuwuliriza yankakasa nga bw'asobola okukozesa ekifo ky'alimu okuzza ssente ezo.
Namuyunga ku looya wange Benon Wagabaza, oluvannyuma yantegeeza nti yali amusisinkanye. Nankya yampa amagezi nti ebya looya nsaana mbiveeko kubanga kkooti za Uganda zitwala ebbanga ddene, ye yali wa kukozesa lyanyi. Nakkiriza kubanga nnali mu buzibu nga nneetaaga ssente nzisasule gye nazeewola wabula nga simanyi nti nnali nneeyongera buzibu.
'Baasooka kunferera ku yintaneeti nga tebannakozesa poliisi'
NAKIRANDA AGAMBA: Waayitawo akaseera katono n'ankubira ng'agamba nti yali azudde konteyina za Hajji Kasujja e Malaba nga Hajji ansasudde ssente zange."
Kyokka Nankya bwe yabadde mu kkooti ya Buganda Road wiiki ewedde, yategeezezza nti Nakiranda ye yamubuulira ku bya konteyina!
ATANDIKA OKUNSABA SSENTE
Bwe yantegeeza nti yali ayagala okubowa konteyina ezo, yansaba doola 4,000 ezaali zigenda okuzitambuza okuziggya e Mombasa azireete mu Uganda era oluvannyuma lw'okuzifuna nnaddamu okumukubira n'antegeeza nga bwe yali atuuse e Malaba okugyayo konteyina ezo.
Namubuuza wa we yali agenda okuziteeka n'ang'amba nti gy'akolera waali wagazi. Ebyo bwe byaggwa, yayongera okunsaba ssente ng'agamba ebintu eby'enjawulo nga musindikira ssente.
Yangambanga nti ebintu bya Uganda byali bizibu era nga bw'otoba na ssente tosobola kubikola. Namusindikira ssente nga mpita mu mikutu egy'enjawulo emirundi egyasoba mu 20, nga ssente nziyisa Orient Bank, Stanbic bank ne Western Union ssente ze banferako zonna awamu zaali mu bukadde 150.
Bwe baalaba nga banzigyemu ssente nnyingi kyokka nga bakyayagala okunziba, baasalawo okupanga ne bakwata mwanyinaze Rogers Wandera ne bankubira essimu nti baali batwaliddwa ku poliisi e Kabalagala nga bavunaanibwa ogw'okuwamba omusajja eyali akola ku by'okuwa olukusa ebintu ebiyingira mu ggwanga.
BAKOZESA POLIISI
Mwannyinaze yankubira essimu n'antegeeza nga bwe baali basibiddwa, awo ne binsobera. Namubuuza kye nnali nnyinza okukola n'ampa Simon Nsubuga eyampa ennamba y'owa poliisi eyali akola ku fayiro yaabwe gye ssaamanya. Ono yampa amagezi nti nteese n'oyo eyali awaabye omusango bwe tunaategeeragana ng'abivaamu.
Nsubuga yang'amba nti omusajja yali ayagala obukadde 18 aggyeyo omusango. Olw'okuba nga byali bizingiddemu mwannyinaze, nnasala amagezi gonna ne nnoonya ssente ezo era ne nzimuweereza ne ndowooza nti byali biwedde.
Waayitawo ennaku nga bbiri zokka ne Nsubuga n'ankubira nti omusajja gwe baali bavunaana mwannyinaze ne Nankya yali afudde n'olwekyo ng'omusango gw'okuwamba omuntu gwali gwa kufuuka gwa butemu ate nga mu Uganda, omusango nga guno gutegeeza kalabba!
Bwe nnayogera ne Nankya yantegeeza nti mukama we Gen. Salim Saleh yali amuyunze ew'akulira ekitongole kya bambega mu poliisi Grace Akullo era ebintu yali agezaako okulaba nga biggwa. Nga baagala mbongere ssente baziwe Akullo, fayiro ereme kugenda mu maaso.
Bwe baalaba sibawadde ssente ku nsonga eyo, Nankya yampangira owamawulire Alex (akola mu lupapula olumu e Namanve) n'agamba nti yali ayagala kuwandiika ku musango guno ate nga kyali kigenda kutuyisa bubi kubanga singa yali aguwandiseeko gwali tegujja kusirika.
Wadde ssaamuwa ssente, teyafulumya mawulire ago.
Bwe nnalaba nga nkomye, abantu bano nga banzibye ssente nnyingi, nasalawo okudda mu Uganda mbanoonye bampe ssente zange wabula Nankya yasalawo okunneegaana ate ye mwannyina Nsubuga yadduka ng'ategedde nti nnali nkomyewo mu ggwanga.
Nankya bwe yabadde mu kkooti, nga ayita mu looya we yalaze nti ye ne Margret Nakiranda baali balina bizinensi era ssente ezo yazimusindikira kubanga baali bakolagana bonna mu bizinensi gy'atannalambulula bulungi.
Ebirala birinde wiiki ejja. Alina ky'amanyi ku nsonga zino nkubira ku 0752628931.
0 comments:
Post a Comment