{UAH} Entaana ejjudde zaabu esattizza abakungubazi
Entaana ejjudde zaabu esattizza abakungubazi
kampala | Mar 01, 2015
Ekifo we bayiikuula zaabu nga bwe kifaanana
Bya MUSA BALIKOOWA ne TOM GWEBAYANGA
BAABADDE bamusimira entaana ne bagwa ku zaabu, agaabadde amaziga ne lifuuka ssanyu na kucacanca. Amangu ddala egyabadde emiranga n'ebiwoobe byafuuse bijaguzo na buluulu obw'essanyu ng'abakungubazi bwe batenda ekisa ky'omufu, okubaleka nga bavuluuja mu bugagga.
Ekibadde ekyalo ky'abavubi n'abalimi kati kyalo ekitudde ku zaabu.
Bino biri mu disitulikiti y'e Namayingo ku kyalo, Nakudi, ssemaka bwe yafudde n'aleka ekyafaayo anti we baabadde bamusimira entaana we baazudde zaabu avuluuja abaabadde bakaaba eby'okukaaba ne babivaako n'omulambo ne basooka bagwerabira ne badda mu kusima zaabu.
Bino biri mu disitulikiti y'e Namayingo ku kyalo, Nakudi, ssemaka bwe yafudde n'aleka ekyafaayo anti we baabadde bamusimira entaana we baazudde zaabu avuluuja abaabadde bakaaba eby'okukaaba ne babivaako n'omulambo ne basooka bagwerabira ne badda mu kusima zaabu.
Abamu ku baabadde basima entaana baabadde baaluganda lwe abaavudde e Busia era ng'ebya zaabu babitegeera bulungi, baagenze okwetegereza ng'ettaka lirimu zaabu ebyokusima entaana ne basooka babikomya awo bamale okuyiikuula zaabu.
Oluvuuvuumo lwa zaabu lwatuuse mangu ku baabadde batudde mu luggya ne mu nju nga bakuuma omulambo era bino olwabagudde mu matu ne basitukiramu nga eyatega ogw'ekyayi nga babagalidde obukumbi ne batandika okuyiikuula ekibanja kyonna nga banoonya zaabu, baagenze okujjukira eby'okuziika ng'obudde buzibye.
Nga January 17, 2015, Charles Bwire, omutuuze w'oku kyalo Nakudi mu ggombolola y'e Banda yafudde era abooluganda lwe ne batandika okutegeka okuziika, wakati mu miranga.
Kyokka abaabadde basima entaana ate baagudde ku zaabu olwo ne badda ku muyiggo gwa zzaabu nga n'amaziga bageerabidde.
Kyokka abaabadde basima entaana ate baagudde ku zaabu olwo ne badda ku muyiggo gwa zzaabu nga n'amaziga bageerabidde.
W'osomera bino, ng'abaggagga b'omu Kampala, Juba ne Nairobi bakuluumulukuka boolekera kyalo Nakudi batere beesimire zaabu.
Okumanya kikutteyo, abasuubuzi n'abasimi ba zaabu ababadde mu disitulikiti y'e Mubende ne Busia kati ebigere babyolekezza Nakudi eri zaabu bo gwe baayise "ow'ejjenjeero", azii¬kuza n'abafu anti atandikira mu ffuuti ssatu (3).
Ekibadde ekyalo ky'abavubi n'abalimi kati keejago anti abantu basiiba mu binnya bayiikuula zaabu, ebyuma ebisa amayinja mw'ali bikaaba buteddiza, pikipiki zeetawula nga paatulo za poliisi, aba bizinensi eza buli kika baasengukira eyo era basula mu nsiisira nga banoonyi ba bubudamu kuba tebaagala kuseguka ku nsulo ya bugagga.
ENGERI GYE BYATANDIKA
Nnamwandu w'omugenzi Bwire, Janet Nazirumbi (42) anyumya: Tubadde mu bufumbo ne baze nga mmulinamu abaana bana. Okufa kwe kwabadde kwa mangu. Twabadde tukyakun¬gubaga ne tuwulira akasattiro ebweru twagenze okuwulira ng'abantu bakun¬giriza nti entaana gye baabadde basima erimu zaabu olwo ffenna eby'okukaaba ne tusooka tubissa ku bbali ne tugenda twerolere ku zaabu.
Eby'okuziika byasannyaladde nga buli afuna enkumbi abakana na kusima, zaabu okukkakkana baze nga tumuziise buzibye era abeetabye mu kuziika baabadde ba munyoto (batono) ate nga nabo ettaka ery'okuyiwa ku mufu, balitema eno bwe baliwenjaamu zaabu.
Ekyewuunyisa, bwagenze okukya ng'abagezigezi omuli n'Abayindi bagguse dda n'obuuma obupima okukaka¬sa nti zaabu w'ali, nga bwe basengejja ettaka mu mazzi era we bwazibidde nga kifuuse kirombe nga n'ebyuma ebyasa amayinja n'ettaka babituusizza.
Abatuuze b'oku kyalo buli omu yatandise okuyiikuula ekibanja kye ng'ateebereza nti n'erirye lirimu zaabu era mu mmita 200 baazuddeyo omulala ng'ali ku ngulu nnyo ng'ate mungiko, ekyawalirizza abantu okwabulira eki¬rombe ky'ewange ne beeyunira ekipya, era mu kusenguka abaabadde basuubizza okunsasula teri yampaddeyo wadde ennusu!", Nnamwandu bw'anyumya.
Kati guweze mwezi mulamba bukya ekirombe kino kizuulibwa era okusinziira ku ssentebe wa NRM mu ggombolola y'e Banda, Osinia Wambongo, ekibangirizi kino kirimu omwaliiro oguwezaako yiika z'ettaka 30 gujjudde zaabu ajja okumala ebbanga ng'asimwa.
"Mu kutandika tw'alina abantu abakunukkiriza mu 10,000 omuli abakola emirimu gy'okusima ettaka n'amayinja, okusa, okunaaza n'okusitula ebizito.
Zaabu ono aleese bizinensi nnyingi omuli amaduuka, woteeri, loogi ez'ekimpatiira nga za bibaati n'enzigi ez'ebiwempe, takisi ezisaabaza, loole ezisomba ettaka eriteeberezebwa okubaamu zaabu, ebibanda bya firimu, ebbaala n'endala," bw'annyonnyola.
OMUYINDI AGULA ETTAKA KU BUKADDE 450
Mu kasattiro mwe mwajjidde n'Omuyindi okuva e Busia, eyapimye n'alaba zaabu nga waali mungi n'aluka pulaani y'okugula ekibangirizi kyonna, ku bukadde 450, kyokka abatuuze baamututte nnabugi si mufungize.
Anton Kiruyi eyava e Jinja ne masiini esa amayinja yategeezezza nti Omuyindi yalabye bamulemesa n'akutula diiru n'omu ku batuuze n'agula ekitundu ky'ekibangirizi ekya fuuti 100 ku 100 ku bukadde 450.
Waayise mbale Omuyindi n'akomawo ng'ekibangirizi kiri mu mannya ge. Abaabadde beesoomye oku¬mulemesa ne basigala mu bbanga, era kati ettaka lyonna ly'asima alitikka ku loole n'alitwala e Busia gy'alisengejjera.
Okusinziira ku Osinia Wambongo, bbeeyi y'ettaka erin¬nya buli olukya kuba poloti eya ffuuti 20 ku 20 eyagu¬langa 250,000/- kati eri ku bukadde 3 n'omusobyo.
ENGERI ZAABU GY'AKOLWAKO
Zaabu bamusimisa nkumbi, bwe batuuka ku mayinja amamyufu oba ag'ekyuma badda ku bukumbi obutono obusima kaabuyonjo, bwe gakaluba nga badda ku nsuluulu.
Mu ttaka n'amayinja mwe muli, emmaali era ng'onoofunamu olina okusa ettaka lino, bw'omala n'olyoza mu bbaafu erimu "macule" (abagagga abagula zaabu be bamuleeta), ng'ono y'anuuna golodi mu mazzi
0 comments:
Post a Comment