UAH is secular, intellectual and non-aligned politically, culturally or religiously email discussion group.


{UAH} PAALAMENTI EGAMBULUDDE BYE YAGAMBYE KU BANNAMAWULIRE

BYA AHMED KATEREGGA

Omumyuka WA Sipiika Mw.Jacob Oulanyah asazizzaamu ebbaluwa eyabadde eragira bannamawulire abagundidde okugasaka ku Paalamenti n'agamba nti aginoonyerezzaako n'asanga nga teriiko mutwe na magulu.

Ng'aggulawo Paalamenti ku Lwokuna olw'eggulo, Mw/ Oulanyah yagambye nti yanoonyerezza ku buvo n'obyuddo b'webbaluwa eyo, buli w'akakiiko akafuzi aka Paalamenti n'agyegaana, nti bwe yabuuzizza n'ebyateesebwa mu lukiiko lwe kyasalibwaaawo okugoba bannamawulire abagundiivu, nga ne bwino ku byo taliiwo. "Ngiggyeewo era temugibala ng'ebbaluwa wabula mugirabe ng'ekipapula obupapula," bwatyo Mw. Oulanyah bwe yalangiridde.

Sipiika yennyini Muky.Rebecca Kadaga, ali mu Amerika ku mirimu emitongole naye omuyambi we Muky.Rani Ahmed  yategeezezza nti ebbaluwa eyo mukama we naye  yabadde talina ky'agimanyiiko.

Mw. Oulanyah we  yalangiriridde bino nga bannamawulire abeegattira mu kibiina kya UPPA nga bakubirizibwa Pulezidenti waabwe Agnes Nadutu (NTV), baabadde bawadde nsalesale wa ku m   Mande nga Paalamenti emenyeewo evbbaluwa eyo oba s'ekyo ensonga bazongereyo mu kkooti ate basibe nattui ku Paalamenti obutaddayo kugiwandiikako mu mpapula oba okugiraga ku TV oba okugyogerako ku laadiyo.

Ku Lwokubiri, ebbaluwa okuva ewa Kalaani wa Paalamenti eri emikutu gy'amawulire lwe yasaasaanyiziddwa ngh'egamba nti buli munnamawulire agasase ku Paalamenti okumala emyaka etaano, taddayo okutandika ne May 1, bawandiike abaggya era bannamawulire 52 be babadde bagenda okukosebwa.

Bannamawulire beemulugunyizza nti gavumenti erabika yabadde erina by'ekukusa omuli n'okuleeta ennongoosereza mu ssemateeka n'amateeka g'ebyokulonda, n'okusoma n'omkuyisa bajeti ya 2015.2016.

Ng'eno bannamawulire  bakyeesaze akajegere, ku Lwokusatu Paalamenti  yeejerezza baminista n'abakungu ba gavumenti abalala abaacakaza ensimbi za bonna bagaggwale mu bibiina by'obwegassi eby'omu Kampala.

Ends….

--
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.

Sharing is Caring:


WE LOVE COMMENTS


Related Posts:

0 comments:

Post a Comment

Popular Posts

Blog Archive

Followers