{UAH} Besigye yeetondedde Bannamasaka
Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA
DR. Kiiza Besigye Kifeefe olwatuuse mu lukungaana lwe yakubye e Masaka n'asooka okubeetondera olw'enfunda essatu ze baakamulonda asiguukulule Pulezidenti Museveni mu ntebe ng'alemererwa.
Besigye mu Masaka yayingiddemu ku Lwokutaano mu lugendo lwe olunaamumazaako disitulikiti zonna ezikola Greater Masaka ng'aperereza aba FDC okuddamu okumukwasa bendera y'ekibiina avuganye ku Bwapulezidenti.
"Nkomyewo kyokka ku luno sizze kubbibwa njagala ekintu kiggweere wano era ffenna tugambire wamu nti, Obubbi bw'obululu tubukooye wano we bukoma tusalewo n'omusittale", Besigye bwe yacamudde Bannamasaka.
Olukuhhaana yalukubye mu kibangirizi kya Children's Park mu maaso g'essomero lya Masaka SSS n'agamba nti, bukya Uganda ebaawo tetegekebwangamu kalulu ka mazima sso nga n'abakulembeze abaakagikwatira enkasi mpaawo yali awaddeyo buyinza eri munne mu bulungi.
Dr. Besigye nga tannayogerera mu lukuhhaana luno yasoose kusisinkana bammemba abaalondebwa okukiika mu ttabamiruka be yasisinkanidde mu Kitovu Family House e Kitovu ne bamuwabula ku miziziko egiyinza okubalemesa obuyinza.
Bano baamwatulidde ng'ebigambo obugambo nti Museveni agenda, bwe babikooye bamwagaza aba¬buulire ekituufu oba omusajja yamulemerera beesalire amagezi amalala. Besigye yatangaazizza nti, ekibagaanye okutwala obuyinza y'enkola eteri nnuhhamu etegekerwamu okulonda.
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment