{UAH} Pulaani ze nnaleka Mayiga azikoze - Dan Muliika
DICKSON KULUMBA
EYALI Katikkiro Daniel Muliika yakwasibwa Ddamula nga December 28, 2005 okutuuka nga February 13, 2007 oluvannyuma lwa Joseph Mulwanyammuli okusaba okuwummula obukulu buno. Ekiseera kye yamala ne Ddamula akinyumya bw'ati;
NAGAANA ENKOLA YA 'REGIONAL TIER'
Oluvannyuma lw'okukwasibwa Ddamula, kye natandikirako kulaba ng'etteeka lya 'Regional Tier' Buganda lye yali emaze okugaana terigenda mu nkola.
Palamenti yali eriyisizza nga lisuubirwa okutandika okukola nga July 1, 2006. Kabaka bwe yali ankwasa Ddamula yang'amba nti nkukwasizza Obwakatikkiro naye Abaganda kirabika tebaagala nkola eno ggwe onoolaba bw'onookikola.
Natuuza enkiiko ez'enjawulo ne Baminisita ku nsonga eno ne nsaba abaali mu nkiiko z'okuteesa ku Regional Tier okulambika ffe abataaziriimu era oluvannyuma nafuna okusalawo.
Nawandiikira Pulezidenti Yoweri Museveni nga April 18, 2006 okumunnyonnyola ku birowoozo by'olukiiko ku nkola eno era tetugiwagira. Namutegeeza nti mu kisanja kyange sigenda kukusaba Federo kuba tolina buyinza bugigaba wabula ηηenda kwebuuza ku bantu baffe, tulikubuulira ng'ekiseera kituuse.
Yateekawo akakiiko okuva mu Gavumenti ezeebitundu nako ne kakkaanya naffe nti enkola mbi, tesobola kukola.
TUBANJA EBYAFFE
Waliwo n'Ebyaffe bingi naddala ebimu ku byanyagibwa Obote ne tutandika okubibanja era emyalo okuli Katosi, Ssenyi ne Kiyindi ne bikomezebwawo e Mmengo.
Twayongera okuteesa okukomyawo ekyapa n'ebizimbe okuli kati Muteesa I Royal University e Masaka era okuwaayo ekifo kino kwali kwa bugubi kyokka ne tulemerako.
OKUTUMBULA EBYENJIGIRIZA N'EBYOBULIMI
Okwongera okutumbula ebyenjigiriza twafuna Abazungu abagabi b'obuyambi ne batandika emirimu kati awayitibwa Bbowa Community Technical Institute e Bulemeezi.
Ebyobulimi twabiraba nga kikulu okubikulaakulanya wamu n'obwegassi era kaweefube eyasooka kwe kununula Faamu y'e Jeza n'eya KK Kawalya.
Zino zaali zigenda kukola ng'ekyokulabirako ng'aliko ekirime ky'ayagala okuyiga n'okulima agenda ku faamu zino.
KIKI KYE NEJJUSA OBUTAKOLA
Enteekateeka zaaliwo okulaba nga tutereeza n'okuzimba ekizimbe kati ekiyitibwa Masengere. Nalonda olukiiko nga lukulemberwa, omugenzi James Mulwana eyagenda mu EADB (East African Development Bank) ne bakkiriza okutuwola akawumbi kamu n'ekitundu era ng'entegeka zaali zaakugyongerako etuuke ku myaliiro munaana. Obuvunaanyizibwa nabuggyibwako leero ng'enkeera lwe tuteeka omukono ku ndagaano ne bbanka okulaba bwe tunaakola omulimu guno. Kino kyankola bubi nti eyanzirira mu bigere, omukolo guno yagusazaamu.
Twali tukoze omukwano n'ekibiina ky'amawanga amagatte nga kigenda kutuwa obuyambi okutambuza Pulojekiti ez'enjawulo, kino tekyasoboka.
Nali nkyagenda mu maaso n'okulaba ng'ekyapa ky'eddwaaliro ly'e Masaka kiddizibwa eri Obwakabaka kisobozese ku kusomesa kw'ebyobusawo mu Yunivasite yaffe.Ekyapa ky'ennyanja ya Kabaka naleka bakinkwasizza nga tumaze okukwatagana n'abekitongole kya NEMA era nga tunoonya abantu be tunaakwatagana nabo okufuula ekifo kino eky'omulembe.
Ebyobulimi; ettaka lyaffe ttono kubanga tulina bibanja lwakuba nti tuli ku byapa n'olwekyo tulina kugattagatta ebibanja ebyo ne tulyoka tuweza obunene obwo. Obwegassi bwe bwali bukyaliwo twali bantu abasinga okulima emmwaanyi wansi w'eddungu Sahara; noolwekyo olina okugatta bannannyini ttaka ne bakolera wamu.
Tetulina bikozesebwa mu bulimi okuli tulakita, ebigimusa, eddagala, ensigo nga bwe weesigama ku biri ku Container Village obeera ojja kusemba kubanga bo baleeta byakukola magoba.
Tetwekebejja ttaka kulaba oba wano wagendawo ki ate n'ekirala teri mulimi ayinza kulima nga talina w'atereka bintu kimuyambe okwegazaanya mu katale. Bino byonna nnali mbitadde mu kiwandiiko ekyali kigenderera okuleeta abalimi bonna wamu nga kati eno enkola egobererwa mu Kenya.
Ekintu ekirala ekyetaagisa mu bulimi kwe kubeera n'entambula ennambulukufu esobozesa ebirimiddwa okukung'anyizibwa.
Embeera y'obudde yakyuka nga kino nnali nkisalidde amagezi nga bwe nnakwasibwa Ddamula nnali ntutte abantu e Kenya okuyiga okufukirira ebirime.
Ddamula nga wamukwatira ebbanga ttono?
Nze bwe bampa Obwakatikkiro tebampa bbanga lyakumalako era sirabawo mutawaana gwonna.
Otegeera ddi nti Ddamula akuggyiddwaako?
Kabaka akuyita n'akubuulira. Kyokka nga bw'eri mpisa yaffe wano bw'asiima ng'owummula. Kabaka okutuuka okusiima wabeerawo bingi ebiyitiddwamu era kyetuva tutamukuba bwaami.
Kiki kye wasinga okuyiga n'okwenyumiririza mu kiseera kyo nga Katikkiro?
Nakisanga nti bw'oba omukulembeze n'oba nga n'ebigendererwa byo abantu babisomye nga birungi, bakwagala era sirowooza nti eriyo abataamatira be nalinnya mu nsalika.
Njozaayoza Kabaka kubanga atukumyekumye ebbanga ddene mu bizibu byonna ebibaddewo kubanga naye alina obuzibu bunene. Bw'ogendera ku mbeera eriwo n'olaba ng'akyalina ky'akyawumbyewumbye n'owulira ng'asiimye abaana basome, n'abantu bajjanjabwe, atukoze bulungi.
Alina obuzibu bungi kubanga waliwo ebyekiika mu kkubo lye osanga yandibadde akoze bingi era nsuubira nti basajja be ne bazaana be balina okulwana kubanga Obwakabaka kitegeeza ebintu bingi.
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment