{UAH} Ebya 'Regional Tier' Gavt. ebigaanyi-KATERRAGA EBYO BIBYO
Bya MUWANGA KAKOOZA
GAVUMENTI eggye enta mu by'okutondawo gavumenti z'ebitundu mu nkola ya 'regional tier' ng'egamba nti terina ssente zaakubiyimirizaawo.
Buganda kye kimu ku bitundu ebyettanira enfuga ya gavumenti eya wakati okugiwa ku buyinza yeekolere ku nsonga zaayo ng'eyita mu 'Federo'.
Gavumenti yali egiwadde enkola ya 'regional tier' gy'egamba nti yeefananyirizzaako ne 'Federo' era ng'essiddwa ne mu konsityusoni kyokka Buganda n'egigaana ng'ewakanya akakwakkulizo k'abantu bonna okukuba akalulu nga balonda Katikkiro.
Ng'ayogera mu lukung'aana lwa bannamawulire olwayitidwa okulangirira olunaku lw'okukuza enkola y'okuzza obuyinza mu bantu (desentulolayizesoni) olunaakuzibwa August 10 e Mbarara , minisita Mwesige yagambye nti ebya 'regional tier' byassibwa ku bbali nga gavumenti terina ssente za kubissa mu nkola.
''Ne ku disitulikiti 111 eziriwo tetugenda kwongerako okuggyako ng'ebyenfuna bimaze kutereera,'' Mwesige eyabadde n'abakulembeze ba gavumenti z'ebitundu bwe yagambye. Kyokka yagambye nti enkola ya desentulolayizesoni eyambye nnyo abantu okufuna obuyinza naddala ng'ebatwalira obukulembeze okumpi ne we bali.
Ne mu palamenti minisita w'oludda oluvuganya owa gavumenti z'ebitundu nga mubaka w'e Busongora South , William Nzoghu , naye yabuuzizza gavumenti lwaki mu nkyukakyuka za Konsityusoni ze yaleeta temwali kya kuzzaawo gavumenti za bitundu .
Wabula nnampala wa NRM Ruth Nankabirwa yagambye bannamawulire nti ebintu bingi bikyalina okwekenneenyezebwa ku nsonga ng'ekimu ku byo y'engabana y'obuyinza wakati w'abakulembeze ku disitulikiti n'ebitundu ebyogerwako.
Disclaimer:Everyone posting to this Forum bears the sole responsibility for any legal consequences of his or her postings, and hence statements and facts must be presented responsibly. Your continued membership signifies that you agree to this disclaimer and pledge to abide by our Rules and Guidelines.To unsubscribe from this group, send email to: ugandans-at-heart+unsubscribe@googlegroups.com or Abbey Semuwemba at: abbeysemuwemba@gmail.com.
0 comments:
Post a Comment