{UAH} BUganda 2016 Okusaba Okwegayilila Olunaku 2 ne 3
Olunaku Olwokubili n'olwokusatu Januali22 ne 23
Isaaya Esuula 41
8 Naye ggwe, Isirayili, omuddu wange, Yakobo (Abaganda yogela elinnya lyo) gwe nalonda, ezadde lya Ibulayimu mukwano gwange;
9 gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti Ggwe muddu wange, akulonda so sikusuulanga;
10 totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; wewaawo, naakuyambanga; wewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.
11 Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa: abo abawakana naawe baliba nga si kintu, era balibula.
12 Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza: abo abalwana naawe baliba nga si kintu era ng'ekirerya.
13 Kubanga nze MUKAMA Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga.
14 Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo (Abaganda – yogela elinnya lyo), nammwe abasajja ba Isilayili; nze naakuyambanga, bw'ayogera MUKAMA, era Omutukuvu wa Isiraeri ye munuunuzi wo.
15 Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo: ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, a'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku.
16 Oliziwujja, empewo n'ezifuumuula, embuyaga ez'akazunu ne zizisaasaanya: naawe olisanyukira MUKAMA, olyenyumiririza Omutukuvu wa Isilayili.
17 Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isilayili siribaleka.
18 Ndizibikula emigga ku nsozi ez'obweru n'ensulo wakati mu biwonvu: ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.
19 Ndisimba mu lukoola omuvule n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni; nditeeka mu ddungu enfugo n'omuyovu ne namukago wamu:
20 balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa MUKAMA gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isilayili ye akitonze.
21 "Muleete ensonga yammwe," bw'ayogera MUKAMA; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo (Abaganda – yogela elinnya lyo).
Abaganda okutya kungi nnyo! OKutya ababafuga, poliisi, amagye, booda booda, abagwiila bangi abayingidde bemumanyi, abalala mbu ba yinvesta, abalogo, abasamize, abasumba aboobulimba, ba nabbi bobulimba. Okutya kukutte ensi yaffe ela kugibutukidde ngekile! Ne bwe bavaayo ne balinnya enyoni bambala okutya! Kaakaksa nnyo Mukama bwagamba mu nyilili 10 nti TEMUTYA.....
Jessica Nakawombe
"Have I not commanded you? Be strong and courageous.
Do not be afraid; do not be discouraged, for the LORD your God will be with you wherever you go." (Joshua 1:9)
0 comments:
Post a Comment